TOP

Ziizino entalo Sheikh Muzaata z'azze alwana

Added 28th March 2018

ENTALO Z’AZZE YEENYIGIRAMU

 Muzaata

Muzaata

  • November wa 2017, yavumirira enkola y’ekitongole ky’ebyettaka ekya Buganda Land Board ey’okulangirira okuwandiika abantu abali ku ttaka lya Kabaka nga bwe babawa ebyapa. Yabuyita bufere n’akunga abantu obuteewandiisa.
  • November 2016, Muzaata yalumba Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga ng’amulumiriza okweyingiza mu nsonga z’Abasiraamu n’azitabula. Yamulabula nga bw’ajja okusasulira byonna by’azze akola Abasiraamu ng’avudde mu ofiisi gye yalimu.
  • June, 2016, omuyimbi Bobi Wine (Robert Kyagulanyi) yawa Muzaata ennaku 14 ng’amaze okwetondera Mmengo ku bigambo bye yali ayogedde ng’avumirira enkola y’okusolooza Etofaali.
  • Mu May 2015, Sheikh Muzaata yalumba Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’avumirira enkola y’okukuhhanya Ettoffaali. Yategeeza nti enkola eno yali terina ky’eyamba Buganda.
  • Mu March 2015, eyali meeya w’e Kawempe, Mubarak Munyagwa yalumba Muzaata n’asaba Katikkiro amuwe obuvunaanyizibwa bw’okumwanukulanga buli lw’anaalumbanga Mmengo. Yamulangira okufuula Obusiraamu bizinensi ye.
  • August 5, 2017, Muzaata yalumba munnakatemba Mariach ng’amuvunaana okweyambisa katemba n’alumba abakulembeze b’Obusiraamu n’okuvvoola eddiini. Yagamba nti Mariach yali ayitiridde ng’akomye w’alina okukoma era yasaba Abasiraamu okumukuba.
  • 2006, obutambi bwa Muzaata ng’alumba Sheikh Shaban Mubajje bwatunda nnyo ng’amulanga okutunda emmaali y’Obusiraamu. Yakunga Abasiraamu obutaddamu kukkiririza mu Mubajje wadde okubasaazisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo