TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalongo abaazaaliddwa ne kizuulwa nga buli omu alina kitaawe wa njawulo beewuunyisa!

Abalongo abaazaaliddwa ne kizuulwa nga buli omu alina kitaawe wa njawulo beewuunyisa!

Added 28th March 2018

Ebintu by’ayongedde okukaluba bwe kyazuuliddwa nti ate abasajja abakaayanira abalongo bano bombi baaluganda!

 Sseggane (owookubiri ku kkono), Nnaalongo Nakabugo ne Baseka Ssengendo nga baakatuuka mu ddwaaliro.

Sseggane (owookubiri ku kkono), Nnaalongo Nakabugo ne Baseka Ssengendo nga baakatuuka mu ddwaaliro.

EKYEWUUNYO! Bakebedde abaana abalongo omusaayi e Wandegeya ne kizuulwa nga buli omu alina kitaawe nga wa njawulo. Kino okutuuka okubaawo wasoose kubaawo kukaayana wakati w’abasajja babiri nga buli omu alaga nti abalongo, Nnaalongo be yazadde babe.

Enkaayana zino zibadde wakati wa Joseph Baseka Sengendo(25) ow’e Nakirebe mu Mpigi ne Patrick Ssegane (30) ow’e Nakasozi- Buddo nga Nnaalongo ye Rashida Nakabugo.

Abalongo baabuwala nga ba myaka esatu okuli; Immaculate Babirye ne Leticia Nakato.

Ebintu by’ayongedde okukaluba bwe kyazuuliddwa nti ate abasajja abakaayanira abalongo bano bombi baaluganda!

Sengendo ye bba wa Nakabugo kyokka kigambibwa nti Nakabugo ne Ssegane abadde omuganza.

Enkaayana bwe zeeyongedde nga ab’oluganda bano ababiri tekuli ayagala kulaba ku munne mu maaso, kyasaliddwawo bagende mu musaayi okuzuula taata omutuufu nga baagenze ku Health Viber diagnostics center e Wandegeya ku Ham Tower.

Sengendo yannyonnyodde nti ye bba wa Nakabugo era n’abaana yabazaalira wuwe kyokka nga bawezezza emyezi ebiri, Nakabugo yava awaka n’amutegeeza nti agenze mu kyalo.

Teyaddamu kumulabako okumala ebbanga kyokka agenda okuddamu okumanya ebimufaako ng’ate afumba wa mukulu we Seggane.

Sseggane eyakkiriza okubeera ne Nakabugo agamba nti wakati mu kubuusabusa oba abaana bano babe, yasooka n’akkiriza okubeera ne Nakabugo kubanga yali ayawukanye ne muto we kyokka oluvannyuma lw’abaana okukula yasazeewo okwagala okuzuula ekituufu si kulwa ng’agenda mu maaso n’okulabira abaana abatali babe kwe kugenda ku mu musaayi akakase.

Ebyavudde mu musaayi Dr. Nelson Mwesige owa Health Viber diagnostics center eyakuliddemu okukebera omusaayi agamba nti byonna ebyavudde mu musaayi baabifunye okuva mu ddwaaliro lya DNA Diagnostics erisangibwa mu ssaza lya Ohio mu Amerika.

Annyonnyola nti Sseggane ye yasooka okumutuukirira omwezi oguwedde n’abaana ng’ayagala kuzuula oba ddala y’abazaala. Olw’okuba yabadde ayagala kukakasa nti ye taata, baakebedde omusaayi okuzuula kakwate ku ludda lwa taata ‘paternity DNA’. Ebyasoose okufuulumizibwa byalaze nti ku baana bombi alinako omu Babirye!

“Kino naffe kyatutabudde era Sseggane tetwasoose kumubuulira bivudde mu musaayi ne tumusaba aleete maama waabwe naye tumukebere okuzuula oba ddala abaana bano y’abazaala ekyakoleddwa nga ddala abaana ba mukyala omu era balongo,” omusawo bw’annyonyola.

Dr. Mwesige yagasseeko nti yabasabye okuleeta omusajja omulala agambibwa okuba nga ye taata w’abaana naye akeberebwe era wano kwe kufuna Sengendo naye eyaggyiddwako omusaayi.

Ebyavudde mu musaayi gwa Sengendo byalaze nti omwana omulala (Nakatto) y’amuzaala.

Sengendo abigaanye Eggulo abazadde bonsatule baayitiddwa ku Health Viber diagnostics center okubategeeza mu butongole ebyavudde mu musaayi era zagenze okuwera ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu nga bamaze okutuuka.

Baawerekeddwaako maama w’abasajja bombi, Robinah Namusisi agamba nti y’abadde agezaako okutabaganya batabani be bombi okuva lwe baafuna obutakkaanya olw’omukyala n’abaana.

Baasose kubayisa mu mbeera ya kubudaabudibwa oluvannyuma, Dr. Mwesige n’abasomera ebyavudde mu musaayi. Sengendo ye yasoose okwogera era mu busungu n’abiwakanya ng’agamba nti kino tekisoboka era tabikkiriza.

“Tekisoboka kuba nti ninako omwana omu era sikkiriziganya na bivudde mu musaayi. Obutabamalira budde oyo omwana ayogerwako okuba owange naye mubawadde mumutwale. Oyo omukazi yava ewange ng’abaana ba myezi ebiri bw’aba nga yasobola okubagabira omusajja omulala kati ate nze banjagaza ki,” Sengendo bwe yatabuse.

Ekiwandiiko ekyalaze nti Nakato azaalibwa Ssengendo.

Ye Ssegane eyalabise nga mukkakamu yagambye nti “olw’okuba nze naleeta ekirowoozo ky’omusaayi, mmaze ebbanga nga neetegekedde embeera yonna eyinza okuddirira era sisobola kuwakanya bya basawo abakugu.

Ndi mwetegefu okulabira omwana owange” Yabadde akyayogera, Sengendo kwe kumwambalira nti “olina okulabira bombi tewali bya kwawula mu baana nze bonna mbakulekedde sirina gwe njagala” era mu kumwanukula Sseggane yakkiriza okulabira abaana bombi.

Nakabugo bino byonna obwedda byogerwa ng’ali mu maziga kyokka oluvannyuma bwe yabuuziddwa oba akkiriziganya n’ebivudde mu musaayi yagambye nti “sisobola kuwakanya basawo ekirungi Sseggane abadde abalabirira nange akkirizza okugenda mu maaso n’okutulabira”

Ate ye jjaaja w’abaana (ku kkono) yasoose kusaba musawo wabeewo endagaano okolebwa wakati wa Sseggane ne Sengendo eraga nti Ssegane agenda kulabira abaana bombi kye yayise ekibonerezo ky’okuganza mukyala wa muto we oluvannyuma ng’abaana bakuze owa sengendo ajja kumumuwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...