
Kadaga agamba nti amawanga ga Afrika mangi galimu okutyoboolebwa kw’eddembe ly’obuntu, obutali butebenkevu, okusosolwa mu by’enfuna, obuli bw’enguzi n’ebirala ebireetedde abantu okugaddukamu ne bagenda okunoonya obubudamu mu Bulaaya ne Amerika abamu ne balyoka balabira eyo ennaku empitirivu.
Bino abyogeredde mu lukung’ana lw’ekibiina ekigatta palamenti mu nsi yonna ekya ‘Interpaliamentary Union’ olugenda maaso e Geneva,okusinziira ku mawulire agafulumiziddwa palamenti ya Uganda.
Kadaga era yanenyezza amawanga g’ebweru geeyingiza mu butabanguko obuli mu Afrika olumu kino ne kisajjula busajjule n’awa eky’okulabirako kya Libya.
Kadaga yagambye nti Uganda ekoze bulungi mu kubusabuda abanoonyi b’obubudamu kyokka n’asaba ekitongole ky’amawanga amagatte ekibavunaanyizibwa ekya UNHCR okugiyamba mu kubakolera enguudo,amalwaliro, ebifo we babeera n’okutereeza obutonde bw’ensi we bali.
Yagambye nti abanoonyi b’obubudamu bayonoonye obutonde bw’ensi mu bitundu gye babeera kuba batema enku n’agamba nti ekitongole kino kirina okuyamba mu kuzzaawo obutonde bw’ensi mu bifo awakung’anira abanoonya obubudamu.
Sipiika wa palamenti ya East Africa Martin Karoli Ngoga yagambye nti ababaka ba palamenti basanidde okussa essira ku kulongoosa ebyenfuna by’abantu kikendeeze abadduka mu Afrika okugenda e Bulaaya ne Amerika.