TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga atabudde famire yange - Minisita Namuganza

Kadaga atabudde famire yange - Minisita Namuganza

Added 29th March 2018

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Persis Namuganza akaabidde mu kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa ng’abatottolera engeri Sipiika Kadaga gy’atabuddemu famire ye.

 Namuganza gwe baakunyizza

Namuganza gwe baakunyizza

Namuganza yabadde mu kakiiko akakubirizibwa Clement Ongalo Obote (Kalaki) bwe yabadde azze okunnyonnyola ekimutabula ne Kadaga.

Akakiiko kaasookedde mu kwetegereza butambi obwalagibwa ku Bukedde ttivvi, Namuganza mwe yalabikira ng’alabula Kadaga okwesonyiwa ensonga ze Bukono kuba si mumbejja.

Abbas Agaba (Kitagwenda) yabuuzizza Namuganza lwaki yalangirira olutalo ku Kadaga ng’amulanga okuwagira Kyabazinga Gabula!

Namuganza yamwanukudde nti obuzibu bwonna bwava ku Kadaga okujja e Bukono nga February 27, 2018 n’atuuza omulangira Nkono ng’akimanyi bulungi nti eno ye famire Namuganza mwe bamuzaala.

Yagambye nti naye alina obujulizi okuli n’obutambi nga Sipiika Kadaga akunga abantu okumulwanyisa, n’agattako nti ekisinga okumuluma kwe kuba nga takyasobola wadde okunywa amazzi mu famire gye bamuzaala kuba waliwo abaagulirirwa basobole okumulwanyisa.

Yatulise omulundi gumu n’akaaba nga bw’ategeeza nti “obulamu bwange mu kiseera kino buli mu katyabaga kuba waliwo abantu abampeereza obubaka ku ssimu nga bantiisatiisa okuntuusaako obulabe.

Ne Susan Magara baasooka kumuweereza bubaka ku ssimu era ekyavaamu kuttibwa”. Yasabye akakiiko okuyita Sipiika Kadaga abannyonnyole lwaki agenderera okutabula famire yaabwe.

Yagambye nti ensonga zino ne Pulezidenti azimanyi bulungi nti olumbe lw’omulangira we Bukono lwali luyimiridde.

Yeebuuzizza Kadaga ky’amulanga okutuuka okumusindikiranga abantu okumulwanyisa ng’akimanyi bulungi nti gw’alwanyisa wa famire gy’atabula.

Mu kaweefube w’okutereeza Busoga, Namuganza yasabye Kadaga okukomya okweyingiza mu nsonga z’Obwakyabazinga kuba nsonga za nnono.

Embeera eri mu famire yalaze nti emweraliikiriza kuba abooluganda tebakyabuuzaganya olw’okutabuka okwaleetebwa Kadaga.

Minisitule y’ekikula ky’abantu mu ggwanga etwala ebyobuwangwa, Namuganza yagisabye okuyingira mu nsonga zino.

Akakiiko akabuuliriza yakasabye okugenda e Bukono bamanye ekifa mu bantu okusinga okusinziira ku biri e Kampala.

Akakiiko okuyita Namuganza kyaddiridde omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah okulagira akakiiko kano okutandika okubuuliriza ku butakkaanya obuliwo wakati wa Namuganza ne Kadaga.

Akakiiko kaatandise okubuuliriza ku Lwokubiri mwe baasisinkanidde ababaka abava mu Busoga abaakulembeddwaamu Gaster Mugoya (Bukhooli North).

Baasabye minisita Namuganza okuggyibwamu obwesige nga minisita olw’okuvumaganya ekitiibwa kya Palamenti, mikwano gye awamu ne ofiisi y’obwaminisita.

Mugoya yalumirizza Namuganza nti azze akunga abantu be Busoga okujeera Kadaga ne Kyabazinga Wilberfoce Gabula Nadiope IV.

Namuganza eyalina omukuumi omu, okuva lwe yatabuka n’ababaka b’e Busoga, Gavumenti yamwongera abaserikale abamukuuma nga mu kiseera kino alina ne kabangali eriko abaserikale munaana abamutambulirako buli w’alaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...