TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi eyabuze e Bwebajja asattizza abazadde n'abasomesa

Omuyizi eyabuze e Bwebajja asattizza abazadde n'abasomesa

Added 30th March 2018

NGA Bannayuganda bali mu kutya olw’abantu abawambibwa n’okuttibwa, ate waliwo omuyizi abuze mu ngeri etetegeerekeka.

 Nakato eyabuze.

Nakato eyabuze.

Margaret Nakato Katasi 19, omuyizi ku Trinity Senior Academy e Bwebajja yabuzeewo n’aleka abazadde n’abasomesa nga bali mu kutya.

Taata wa Nakato, Edward Ssewannyana omusuubuzi w’e Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe, asazeewo kuddukira ku Poliisi emuyambe okumunoonyezaako muwala we, awezezza wiiki nnamba nga talabikako.

ENGERI GYE YABULAMU

Ssewannyana yategeezezza nti; Ennaku z’omwezi nga March 21, 2018, muwala wange banne bantegeeza nti yayambala n’abaako gy’alaga kyokka ekyatwewuunyisa, twamulinda okudda nga talabikako.

Twagezaako okumukubira essimu okuzuula gy’ali ng’evuga naye nga tagikwata ne twongera okweraliikirira. Enkeera nagenda ku Poliisi e Bwebajja ne nkola lipooti era fayiro n’egguliwawo ku nnamba; SD 03/23/03/2018.

Poliisi ekoze kyonna ekisoboka okuzuula muwala wange naye nga buteerere. Nkyewuunya muwala wange gy’ali kuba sijjukira kumuvuma oba okumukubako, nakubidde ne nnyina essimu ne mubuuza oba y’ali naye n’antegeeza nti si kituufu.

Ndi mu kutya kuba ebiri mu ggwanga eby’okuwamba n’okutta abantu nabyo bisusse,” Bwatyo Ssewannyana bwe yannyonnyodde.

Ssewannyana ayongerako nti waliwo abantu Poliisi b’etandise okulinnya akagere nga bateeberezebwa okubaako kye bamanyi ku kubula kwe.

Kigambibwa nti bambega ba Poliisi baliko nnamba z’essimu ze bagoberera nga ziteeberezebwa okubeera nga bannyinizo, be baaluka olukwe lw’okubula kwe.

Ab’essomero lya Trinity Senior Academy, Nakato gy’abadde asomera siniya eyoomukaaga, nabo bayingidde mu muyiggo gwa Nakato, oluvannyuma lwa famire okubasaba okubayamba okuzuula yonna gy’ali.

Ensonda mu bambega ba Poliisi ziraga nti omuwala ono okuva lwe yabula abadde akyusakyusa ebifo mw’abeera.

Abadde abeera mu bifo okuli; Lubaga, Lweza, Kajjansi, Seguku, Kigo n’awalala. Famire egamba nti baakubye ku ssimu ye n’eyitamu naye nga tagikwata ate olwazzeemu okumukubira essimu nga teriiko.

Famire egamba nti tewali y’avuddeyo kubasaba ssente oba okubategeeza nti amanyi muwala waabwe gy’ali nti naye beeraliikiridde olw’ensonga nti tewali kucankalana kwonna kwaliwo kuyinza kuba nga kwamuleetera okubula.

Ssewannyana yayawukana ne mukazi we Beatrice Namiiro, mu mwaka gwa 2001, n’amulekera abaana okuli n’abalongo era y’abakuzizza.

Poliisi egamba nti waliwo nnamba z’essimu ezaakubira Nakato olunaku lwe yabula era nga zigenda kubayamba nnyo okuzuula omuwala ono.

We twagendedde mu kyapa nga bambega ba Poliisi bakyasamba nsiko mu bitundu eby’ejawulo ku luguudo lw’e Ntebe nga bagamba nti, emirongooti gyabwe gibalaga nti bannyini masimu agaasemba okwogera ne Nakato gye babeera.

Kinajjukirwa nti famire y’omuwala Susan Magara nabo baasooka kubulwako muwala waabwe kyokka oluvannyuma kyazuulibwa nti yali awambiddwa abantu abaabasaba akawumbi ka ssente.

Magara oluvannyuma yattibwa mu ntiisa omulambo gwe ne guzuulibwa nga gusuuliddwa e Kitiko- Birongo okumpi n’oluguudo lwa Entebbe Express way.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...