TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obubaka bwa Kabaka obwa Paasika: 'Tugenda kubanja Ebyaffe yonna gye biri'

Obubaka bwa Kabaka obwa Paasika: 'Tugenda kubanja Ebyaffe yonna gye biri'

Added 30th March 2018

“Tuli basanyufu okulaba nti ebimu ku byetwagala bikolebwe bitandikiddwa. Muno mwe muli Twekobe y’e Mmengo n’embiri mu Kampala. Ennyingiza mu Ggwanika ekyali ntono naye era emirimu gitambula. Kyetuva tussa omulaka okubanja buli nsimbi yaffe yonna gy'eri oba gye tubanja esasulwe tumalirize ebyo bye tulina okukolako omwaka guno,” Kabaka bwe yategeezezza mu bubaka bwe.

 kabaka Mutebi

kabaka Mutebi

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti Obwakabaka bwakugenda mu maaso n’okubanja buli nsimbi n’ebintu byaabwo yonna gyebiri bikozesebwa okukola ku nkulakulanya Obuganda gye bwettanira.

Bino biri mu bubaka bwe obw’amazuukira ga Yesu bwe yaweereza eri eggwanga bw'awadde leero ku Lwokutaano n'agamba nti musanyufu okulaba nti ebimu ku bye yalagira bikolebwe bitandikiddwa okuli okuyooyoota Twekobe mu Lubiri e Mmengo n’embiri endala mu Kampala.

“Tuli basanyufu okulaba nti ebimu ku byetwagala bikolebwe bitandikiddwa. Muno mwe muli Twekobe y’e Mmengo n’embiri mu Kampala. Ennyingiza mu Ggwanika ekyali ntono naye era emirimu gitambula. Kyetuva tussa omulaka okubanja buli nsimbi yaffe yonna gy'eri oba gye tubanja esasulwe tumalirize ebyo bye tulina okukolako omwaka guno,” Kabaka bwe yategeezezza mu bubaka bwe.

Mutebi II anaatera okujaguza emyaka 63 egy’amazaalibwa ge, yayongedde okukunga abantu be okwettanira okwekebeza endwadde eza buli kika naddala ezireetebwa akawuka ka sirimu kubanga ensi si yaakugenda mu maaso ng’abantu balwadde.

Kabaka yayongedde okusaba gavumenti  okukolagana n’abakulembeze ab'ensikirano kubanga bano bamanya mangu ebizibu by’abantu baabwe ne babinogera eddagala olwo enkulaakulana ey’omuggundu n'etuukibwako mu ggwanga lyonna olw’enkola ey’ennono esobozesa kino gye babadde nayo emyaka n’ebisiibo.

“Ennaku si nnyingi emabega, twakyaza Abataka okuva mu Kenya. Ekimu ku byabaleeta kwe kubangawo enkola mu by’obuwangwa n’ebyenfuna wakati w’eggwanga ly’Abakikuyu n’Obwakabaka bwa Buganda. Mu mboozi yaffe ne bannaffe abo, twassa essira ku zigavumenti okukolagananga n’abakulembeze abensikirano olw’ensonga nti bbo bamanya mangu ebizibu by’abantu baabwe ne babinogera eddagala olwo enkulaakulana ey’omuggundu n'etuukibwako mu ggwanga lyonna. Kino nga kikwatibwa bulungi, tewaba bukuubagano kuba ebigendererwa biba bye bimu,” Omutanda bwe yayongeddeko.

Kabaka Mutebi II akulisizza abantu bonna abayise mu kisiibo mu mirembe n’essanyu saako n’okusaasira bonna abafiiriddwa ab'enganda n’emikwano bw'atyo n'asaba Katonda abagumye n’emyoyo gy’abagenzi agiwummuze mirembe.

“Nga bwe tusoma mu bitabo ebitukuvu, Okuzuukira kwa Yesu kwatuwa essuubi nti nga tuvudde mu nsi eno, waliwo gye tulaga eri okwesiima okw’emirembe n’emirembe. Mu kisiibo twefumittiriza ku bulamu bwaffe ng’abantu ne tunyweza okukkiriza kwaffe eri Katonda wamu n’okwongera enkolagana ne bantu bannaffe. Tubaagaliza Paasika ey’essanyu n’emirembe,” Obubaka bwa Kabaka bwe bwakomekkerezeddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....