TOP

Poliisi enywezezza eby'okwerinda mu bikujjuko bya Paasika

Added 30th March 2018

Bannayuganda nga banyumirwa eggandaalo lya Paasika, Poliisi enywezezza eby'okwerinda okukuma emirembe n'okulaba nga abantu basanyuka awatali kutataganyizibwa

 Emiliano Kayima(ku kkono) omwogezi wa poliisi ng'aliko byanyonyola Ssabavvulu Balaam (ku ddyo0 ne DPC Kyeyune

Emiliano Kayima(ku kkono) omwogezi wa poliisi ng'aliko byanyonyola Ssabavvulu Balaam (ku ddyo0 ne DPC Kyeyune

Poliisi erabudde abateekateeka okutabangula emirembe mu bikujjuko bya Paasika.

Nga Bannayuganda bagenda mu maaso n’okunyumirwa eggandaalo lya Paasika, Poliisi etegezezza nti enywezezza eby’okwerinda  okulaba nga abantu basanyuka mu mirembe n’awera nti bakufaafaagana n’abateekateeka okutabangula emirembe n’okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka.

Bwabadde alambula Jahazi Pier ekimu ku bifo ebisanyukirwamu e Munyonyo awategekeddwa ekivvulu ekitumiddwa Easter Wato- Wato ku Ssande ekya Ssabavvulu Balaam,  omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emiliano Kayima.

ategezezza nti buli mutegesi wa kivvulu eyafunye olukusa bagenda kumuwa obukumi obumala kyokka ono abalabudde (abategesi b’ebivvulu) obutalanga bayimbi abataliwo oba abatagenda kuyimba nti kubanga kino olumu kivvirako abantu okwecanga ne bonoona n’ebintu.

Ye Balaam Baruhagara era ategese ne Easter Wato-Wato e Kavumba ku Mmande ategezezza nti enteekateeka z'ebivvulu bye ziwedde kati alindiridde baddigize abayimbi okuli; Afrigo Band, Jose Chameleone, Madoxx Ssematimba, Desire Luzinda n'abalala babakube emiziki

ate ku lwa bategesi b’ebivvulu asabye abayimbi buli mu gye bamulanze atuukirize obuvunannyizibwa ayimbe okwewala akavvuyo era asuubiza nti abategesi abannaba balyazamanyiziddwa abayimbi bakuyambibwa nga bayita mu kibiina kyabwe  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...