TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba Lwanga ne Ssaabalabirizi Ntagali batadde akaka mu kkubo ly'omusaalaba

Ssaabasumba Lwanga ne Ssaabalabirizi Ntagali batadde akaka mu kkubo ly'omusaalaba

Added 31st March 2018

Ssaabasumba Lwanga ne Ssaabalabirizi Ntagali batadde akaka mu kkubo ly’omusaalaba

 Ssaabasumba Lwanga

Ssaabasumba Lwanga

OKUTAMBUZA ekkubo ly’Omusaalaba kwakulembeddwa obubaka bw’Amazuukira obukambwe okuva ewa Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga ne Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali eri Gavumenti ku ttemu erikudde ejjembe. Abakulu bombi, baasoose kuwa bubaka bw’Amazuukira ku Lwokuna akawungeezi nga bwe beetegekera Olwokutaano Olutukuvu okutambuza ekkubo ly’Omusaalaba.

Bwe yabadde awa obubaka bwe obw’Amazuukira mu ofiisi ye e Lubaga ku Lwokuna, Ssaabasumba Lwanga yagambye nti, abantu bangi abasanga ebizibu ebiwerako mu ggwanga ne mu nsi yonna.

Yagambye nti, obutabanguko mu maka bweyongedde, obwavu, obutabanguko obusibuka ku ttaka, okuwamba abantu, ettemu erisukkiridde, okuggyamu embuto n’obwamalaaya n’agamba nti, bavumirira ettemu n’okuwamba abantu n’agamba nti, Gavumenti yeetaaga okunyweza ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okusobola okuyimiriza obuzzi bw’emisango obukudde ejjembe n’obubinja bw’abajambula abeesomye okutigomya eggwanga.

Yagambye nti, abantu abawambibwa ne battibwa beeyongedde n’agamba nti, ennaku zino bw’ofuluma awaka toba mukakafu nti onaddayo ng’oli mulamu. Yagasseeko nti, ekitongole ekinoonyereza ku misango, kiremeddwa okuwa lipooti ku bintu ebifaanana bwe biti. Poliisi enfunda eziwera ebadde enokolwayo n’eteekebwa ne ku nninga ewe lipooti ku kutemulwa kw’abantu okuli eyali mwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, abakulembeze b’Abasiraamu, abakazi mu bitundu bya Nansana n’e Ntebe.

Ssaabasumba Lwanga yagambye nti, abantu abazza emisango gino, balina okuvunaanibwa mu mateeka awatali kuttira muntu ku liiso olw’ekifo n’obuvunaanyizibwa bw’alina mu kitundu.

Ebigambo bya Ssaabasumba yabyogeredde mu kiseera ng’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI, kyakamala okuvaayo ku nkomerero y’omwaka oguwedde ne kikwata abamu ku bamayinja ba poliisi olw’okwenyigira mu buzzi bw’emisango gattako n’omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010 Abdallah Kitatta ne basimbibwa mu kkooti y’amagye e Makindye. “Ettemu erisukkiridde ku baana, abakazi n’abasajja bbi nnyo. Tukubira Gavumenti omulanga eveeyo ku nsonga eno, abali emabega w’ebikolwa bino omuli n’abakungu ba Gavumenti bakwatibwe bavunaanibwe,” Ssaabasumba bwe yategeezezza.

Ne Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali yagambye nti, Bannayuganda balina okukozesa eggaandaalo lya Paasika lino bakomye ebikolwa eby’ettemu ate bawe ekitiibwa obulamu ng’ekirabo Yesu Kirisito kye yabawa mu kufa kwe ku musaalaba n’okuzuukira kwe.

Yagasseeko nti, okulwa okusalira ebikolwa by’ettemu amagezi, kiviiramu abantu okukola ebikolwa ebyawukana ku njigiriza ya Yesu ebiwa obulamu. “Okufa kw’abantu okweyongera nga tewali kikoleddwaawo kukuyimiriza kifuuse kitundu ku ngeri abantu gye bafaamu ennaku zino naye eyo si ye ngeri ya Yesu.” Ntagali bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...