TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko ka Bamugemereire kakunyizza Mulira ku ttaka okuli yunivasite e Mukono

Akakiiko ka Bamugemereire kakunyizza Mulira ku ttaka okuli yunivasite e Mukono

Added 31st March 2018

Akakiiko ka Bamugemereire kakunyizza Mulira ku ttaka okuli yunivasite e Mukono

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kakunyizza munnamateeka Peter Mulira ne kamulagira annyonnyole ekigendererwa ky’alina olw’okubeera nti buli kadde ateekawo embeera ey’okulwanagana n’Ekkanisa ku ttaka ly’e Ntaawo Mukono kwe baali bookera Abalabirizi mu August wa 2016.

Muliira baamubuuzizza akakwate kalina ku ttaka lino n’ategeeza nti, ye muzzukulu w’omugenzi Ham Mukasa eyawaayo ettaka lino eri ettendekero ly’Ekkanisa erya Bishop Turker Theological College mu 1921 kyokka kati ettendekero eryo lyafuuka Uganda Christian University.

Muliira yannyonnyodde akakiiko nti nnyina omugenzi Rebecca Namugenze Mulira yali muwala wa Ham Mukasa. Yagambye nti ye muzzukulu mu luggya olwo era ye munnamateeka wa famire ya Ham Mukasa kyokka okujja mu kakiiko yazze nga mujulizi oluvannyuma lwa Rev. Dr. John Ssennyonnyi omumyuka wa Cansala wa UCU okujja mu kakiiko ku Lwokusatu n’annyonnyola engeri Ham Mukasa gye yabawaamu ettaka lino eriri ku bulooka 99 poloti 2 Kyaggwe.

Muliira agamba nti ettaka lino ekkanisa baagiwaako liizi ya myaka 99 so si bwannannyini obwenkomeredde. Yaggyeeyo ebyafaayo ku ttaka eryo, n’aleeta n’ebiwandiiko kyokka bwe baamulaze ebbaluwa Ekkanisa gy’egamba nti, Mukasa gye yawandiika ng’abawa ettaka Mulira n’agamba nti eyo njigirire kubanga omukono oguliko tegufaanaana n’ogwa Ham Mukasa oguli ku biwandiiko ebirala. Mulira yazze ne Peter Kasedde Mukasa omusika wa Ham Mukasa aliwo.

Mulira agamba famire eyagala kuzimba ssomero naye tebalina ttaka nga kye basinga okwagala kwe kutuula n’Ekkanisa bakkaanye ku kitundu ky’erina okusigaza ku ttaka lino ne famire esigazeeko kubanga tebalina kigendererwa kya kusengula bantu abaalisengako.

Yategeezezza nti Mukasa we yafiira mu 1956, yali takyasobola kuwandiika obuyinza bw’okukola ekiraamo n’abuwa mutabani we James Mukasa kyokka kirabika ebimu ku byobugagga by’omugenzi byalekebwa ebbali kubanga ne Administrator General lipooti gye yakola mu biseera ebyaddako eringa eraga nti waaliwo ekkobaane okukweka ebyobugagga ebimu ne bitalagibwa nga kwe kuli ettaka lino lye bakaayanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...