
Abatuuze mu lukiiko mwe beekubidde enduulu eri abakulembeze baabwe.
ABATUUZE b’e Bunjakko abaasengulwa ku ttaka balaajanidde pulezidenti Museveni ku kisuubizo kye yakola eky’okubagulira ettaka. Abatuuze abasoba mu 1,000 be baasengulwa ku ttaka lya Mulangira David Mawanda Namugala.
Bano baategeezezza nti ne gye babadde baddukira ku ku kyalo Naamala nayo omugagga omulala ayitibwa Moses Kazibwe yabagobyeyo nga mu kiseera kino babundabunda. Bino baabyogeredde mu lukiiko lwe baatuuzizza ku kisaawe e Kasawo mu muluka gw’e Bunjakko mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi.
Olukiiko lwetabiddwaamu munnamateeka w’essaza lya Mawokota, Simon Peter Kawuki mwe baatemedde empenda z’okudda ku ttaka, omugagga Kazibwe kwe yabasengudde. Abatuuze baategeezezza nti Mawanda ye yasooka okubasengula, poliisi n’ekoona ennyumba zaabwe n’okusaawa ebirime byabwe ekyavaako enjala.
Wabula Pulezidenti ya basuubiza okuteeseganya ne Mawanda baddeyo ku bibanja byabwe. Kyokka ne gye baddukira ku kyalo kye Naamala nayo bagobeddwayo Kazibwe. Ettaka Kazibwe kw’ababagobaganya liwerako yiika ezisoba mu 500 kyokka lya muntu omu, kyokka nga bbo abangi tebalina we basula yadde okulimira. Munnamateeka Simon Peter Kawukki yagumizza abatuuze bano nti waakukola ekisoboka okulaba nga Kazibwe tabagobaganya era waakutuula naye bakkaanye