
Ntagali ng'abuulira
SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Rev. Stanley Ntagali agambye nti okuzuukira kwakulemberwa okuggyawo ejjinja eryali lisaanikidde entaana ya Yezu Kristu n’aligeza ku bizibu ebiri mu Uganda ebisaanye okusooka okuvaawo abantu okubeera obulungi.
Abadde mu kuyigiriza bw’akulembedde mmisa ssatu ku All Saints Cathedral e Nakasero n’agamba nti okutta abantu naddala abakyala ennaku zino, okubba ettaka, obwavu obukudde ejjembe n’ebbula ly’emirimu bye bimu ku bifaanana ng’ejjinja eryasooka okuvaawo Yesu ng’azuukira era nga gavumenti esaanye ebisseeko essira.
“Yezu yali mu nsi ng’ali mu bulamu obw’omuntu nga ffe era ebizibu bye yayitamu bisaanye bituyigirize okwongera okwekwasa Katonda. Buli kiseera tuwulira amawulire amabi ku TV ne ku Radio ag’okutta, okubba n’okulyazaamaanya n’ebirala naye nga waliwo amawulire amalungi aga Yezu abantu ge balagajjalira,” bwe yategeezezza mu kubuulira kwe.
Asiimye Abakrisitaayo okwewaayo ne basonda ssente okuzimba Kkanisa ya lutikko ku All Saints gye basuubira okutuuza abantu 5000 nga baagala eserekwe mu August ng’ekitundu kiko kyakumalawo obuwumbi bwa ssente musanvu era nga basigazza bibiri okukimaliriza.
Awadde era amawulire nti ekizimbe kya Church House ekitutte abbanga kiwedde ng’abazimbi bakibakwasa mu mwezi gwa May.
Wabaddewo n’okusaba okwenjawulo eri famile ya Brigadier Charles Wacha nga yeebaza Katonda okumuwonya endwadde n’okumuyisa obulungi mu kulamaga mu nsi entukuvu.
Okusaba era kwetabiddwako gavana wa Bank of Uganda Emmanuel Mutebire, omulamuzi eyawummula Benjamin Odochi, eyali minisita era Katikkiro wa Uganda Amama Mbabazi n’abalala.