TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata awambye omwana n'apeeka omukazi asasule 2,500,000/-

Taata awambye omwana n'apeeka omukazi asasule 2,500,000/-

Added 2nd April 2018

EKITONGOLE kya Flying Squad ekikola ku misango egya nnaggomola kinunudde omwana ow’emyaka 4 eyawambiddwa ng’agenda ku ssomero nga March 22, 2018.

 Atuhairwe (ku kkono), omwana Desire ne nnyina.

Atuhairwe (ku kkono), omwana Desire ne nnyina.

Omwana Desire Resty Kahunde 4, yawambiddwa omuvuzi wa bodaboda Yusuf Atuhairwe 37, omutuuze w’e Bbira mmemba wa Boda Boda 2010 ng’avugira ku siteegi ya Clock Tower.

Omwana gwe yawambye wa muganzi we, Beatrice Kahunde 31, omusawo ku kalwaliro akamu e Zzana ku luguudo lw’e Ntebe.

Olwawambye omwana nga March 22, Atuhairwe n’akubira nnyina w’omwana essimu n’amulagira okusasula ebbanja lya pikipiki gy’avuga bw’aba ayagala okuddamu okulaba omwana we nga mulamu.

Kahunde agamba omwana yawambibwa nga March 22 bwe yali agenda ku ssomero ne banne.

Agamba nti, omwana yali abeera ne mukulu we Annette Karumba ku kyalo Kyejumba mu muluka gw’e Rwamukoola mu ggombolola y’e Katooke e Kyenjojo.

Agamba nti, ku makya nga bagenda ku ssomero, Atuhairwe ng’ali ku bodaboda n’omusajja omulala, baawamba omwana ne bategeeza abaana be yali agenda nabo nti, baali bamututte ku ssomero bajja kumusangayo.

Yagasseeko nti, abaana be yali nabo bwe baatuuka ku ssomero tebaategeeza basomesa nti munnaabwe yali atwaliddwa abasajja ne bwe badda awaka tebaanyega okutuusa lwe baababuuza ne balyoka boogera.

“Ku ssaaawa 9:00 ez’emisana, Atuhairwe yankubira essimu n’ahhamba nti seeraliikirira omwana y’amulina n’ahhamba nti nsasule looni ya pikipiki ye obukadde bubiri n’ekitundu ezaali zibulayo alyoke ampe omwana wange.” Kahunde bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, oluvannyuma yamwegayirira amuwe omwana n’amutegeeza nti basisinkane mu Kampala amumuwe. Bwe yatuuka e Kampala nti ate n’amugamba nti ali wala amulabe nkeera.

Nalwo bwe lwatuuka n’amugamba nti ate amusange e Mubende. Bwe yatuuka e Mubende n’amutegeeza nti ate enkuba yali emulemesezza basisinkane e Kampala enkeera. Yalaba amuwanvuya kwe kuddukira mu Flying squad.

Herbert Muhangi aduumira Flying Squad yagambye nti, bwe baafuna amawulire n’essimu Atuhairwe gye yali akozesa, baamulinnya akagere okutuusa lwe baamukutte n’abatwala gye yabadde akwese omwana ewa muganda we Sam Mwesigye ku kyalo Butumi mu ggombolola y’e Kiyuuni e Mubende.

OWA FLYING SQUAD ALABUDDE

Muhangi yalabudde abazadde abasindika abaana ku masomero nga bali bokka n’agamba nti, ekiwambabantu kyeyongedde mu ggwanga, omuzadde alina okukakasa nti omwana we amutuusa ku ssomero ate n’abalina okumuggyayo bateekeddwa okuba ng’ab’essomero babamanyi bulungi.

Kahunde yagambye nti, Atuhairwe okuwamba omwana we, basooka kutabuka ne baawukana wiiki ssatu emabega ng’entabwe eva ku Atuhairwe kugaana kumutwala mu bakadde be.

Atuhairwe yagambye nti, baagula pikipiki (Bajaj Boxer) nnamba UEH 796X ku bbanja lya 5,000,000/- ng’omukazi ye yali azisasula.

Bwe baakyawaganye, pikipiki n’agenda nayo naye abanja n’asigala ng’ayagala bbaalansi n’atiisa n’okumusiba. Wano kwe kusalawo awambe omwana omukazi asasule ssente amuddize omwana we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...