TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnakyala abadde aguza baddereeva enjaga Poliisi emukutte

Nnakyala abadde aguza baddereeva enjaga Poliisi emukutte

Added 2nd April 2018

POLIISI ekoze ekikwekweto mu bakolera ku kizimbe kya Platinum mu Kampala n’egwa ku kibondo ky’abaguza ab’ebidduka enjaga omuli n’omukazi.

 Melisa eyakwatiddwa mu kikwekweto ky’enjaga.

Melisa eyakwatiddwa mu kikwekweto ky’enjaga.

Okukola ekikwekweto kino, Poliisi yasoose kutemezebwako abantu nga bwe waliwo omukazi gwe balaba ayambuka waggulu ku kizimbe kino entakera n’akasawo akagambibwa nti mw’agitambuliza n’agiguza abavubuka abakuhhaanira mu bbaala esangibwa ku kizimbe kino ne waggulu waakyo.

Akulira ebikwekweto ku poliisi ya CPS, Ivan Nduhura yagambye nti oluvannyuma lw’okutemezebwako, abaserikale baasitukiddemu ne bazingako ekizimbe kino ne bakwata abantu 10 nga mu bano kwabaddeko omukazi eyeeyita Melisa ng’ono yasangiddwa n’emisokoto gy’enjaga mu kasawo gye yabadde aleese okuguza abavubuka. Kigambibwa nti asinga kugiguza baddereeva ba takisi.

“Twategeezeddwa nti Melisa buli lw’agenda ku kizimbe kino n’akasawo abeera akweseemu emisokoto gy’enjaga era bwe bamulabye ne batutuusaako amawulire ne tugenda ku kizimbe kya Platinum kwe kumukwata n’abalala,” Nduhura bwe yategeezezza.

Yagambye nti Melisa olwalabye poliisi n’ayagala okudduka wabula abaserikale ne bamukwata wakati mu kubalwanyisa. Yategeezezza nti guno mulundi gwakubiri nga poliisi ekwata Melisa.

Ogwasooka era yasangibwa n’emisokoto gy’enjaga mu kasawo. Yagambye nti waliwo abavubuka abakuhhaanira ku bizimbe waggulu ne bakommonterayo enjaga gye bava ne batandika okubba abantu n’abalala ne bavugisa ekimama.

Abaakwatiddwa batwaliddwa ku poliisi ya CPS era gye baaliiridde Paasika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...