TOP

Aba UPDF 4 bafiiridde e Somalia

Added 3rd April 2018

EGGYE lya UPDF erikuuma emirembe mu Somalia lisse abatujju ba Al-Shabaab 30 abaabalumbaganye ne batta abajaasi ba Uganda bana n’okulumya abalala mukaaga.

 Ebimu ku by'okulwanyisa UPDF bye yawambye ku batujju ba al- Shabab

Ebimu ku by'okulwanyisa UPDF bye yawambye ku batujju ba al- Shabab

Brig. Richard Karemire, omwogezi wa UPDF yagambye nti obulumbaganyi bwabaddewo ku Ssande abatujju ba Al- Shabaab bwe baalumbye enkambi ya UPDF ey’e Quoroyole, Buulo Mareer ne Golwen.

Zaabadde ssaawa 3:00 ez’oku makya abatujju abaabadde batambulira mu mmotoka munaana ng’ebbiri ze ziriko eby’okulwanyisa ne boolekera enkambi za UPDF.

Abatujju baasoose kutulisiza bbomu ku mulyango oguyingira mu nkambi ya UPDF eye Bulamarer nga tebannaba kuyingira mu kizimbe munda.

Emmotoka endala nayo yatulikiddemu bbomu ng’eyolekera emmotoka z’abajaasi ba Uganda abaabadde bazze okutaasa embeera.

UPDF oluvannyuma yasobodde olutalo okululinnya ku nfeete bwe yasindiikirizza abatujju ne baddayo gye baavudde ng’ebasseemu abawera 30.

Kyokka ne UPDF yafiiriddwa abajaasi bana n’abalala mukaaga ne bagendera ku bisago mu bulumbaganyi buno.

Baasobodde n’okubasuuza eby’okulwanyisa okuli; PK Rifles 4, Rocket Propelled Guns 2, Recoiless Guns 2, Walkie Talkie 1 ne Sub Machine Gun Rifles 18.

UPDF y’esinga abajaasi abangi mu ggye ly’omukago gwa Afrika erimanyiddwa nga AMISOM eriweza abajaasi 22,000.

Amawulire ga Guadian gaategeezezza nti Uganda yafiiriddwa abajaasi abawera 40 mu bulumbaganyi buno awamu n’okutta omujaasi wa Somolia omu.

Kyokka Karemire ono yamuyise wolokoso ataliiko mutwe na magulu. Ng’oggyeeko okulumba UPDF abatujju era baayonoonye n’ebintu bya bantu baabulijjo ebiwerako omuli amaduuka n’amayumba bye baateekedde omuliro.

Ensonda zaategeezezza nti abatujju si basanyufu olw’abantu okuguza abajaasi ebintu nga sigala n’ebyokunywa.

Abatujju ba Al Shabaab bazze bakola obulumbaganyi obw’enjawulo ng’obukyasembyeyo okuba obw’amaanyi bwaliwo mu October wa 2017 mwe battira abantu abasukka 500 mu kibuga Mogadishu ekya Somalia.

Mu January wa 2016 aba Al Shabaab batta abajaasi ba Kenya abasoba mu 100 abaali ku gw’okukuuma emirembe.

Mu July wa 2016, ekibiina ky’omukago gwa Afrika kyalangirira entegeka z’okutandika okukendeeza ku bungi bw’abajaasi abakuuma emirembe mu Somalia okutandika mu October wa 2018 kukomekkerezebwe mu 2020.

Ekibiina kya mawanga amagatte nakyo kyakiwagira. Waaliwo okutya nti ssinga omuwendo gw’abajaasi gunaayongera okukendeera kiyinza okwongera abatujju amaanyi n’okuteeka Somalia n’amawanga agagiriraanye ku bunkenke.

Brig. Karemire yasaasidde ab’ehhanda z’abajaasi abaafiridde mu bulumbaganyi buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...