TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuzungu alumirizza abanene mu poliisi okwezza ebintu bye

Omuzungu alumirizza abanene mu poliisi okwezza ebintu bye

Added 4th April 2018

OMUZUNGU Paul Mathias 57, abadde mu kkomera alumirizza abanene mu poliisi okwekobaana ne mukazi we, Lillian Kaitesi okumutwalako ebintu bye okuli amaka agasangibwa e Mawanyi - Bwebajja ku lw’e Ntebe.

 Paul Mathias ng’ayogerako eri Bannamawulire ku woofiisi za Rwakafuzi ku Uganda House.  Ku ddyo, Omwogezi wa Poliisi Emiriano Kayima ng’annyonnyola.

Paul Mathias ng’ayogerako eri Bannamawulire ku woofiisi za Rwakafuzi ku Uganda House. Ku ddyo, Omwogezi wa Poliisi Emiriano Kayima ng’annyonnyola.

“Poliisi bwe yankwata bantwala eri Kayihura eyampa ebiragiro obutaddayo kulinnya mu maka gange e Bwebajja. Okuva ewa Kayihura, natwalibwa mu kkomera e Nalufenya gye nava ne banziza e Kigo.

Navudde e Kigo ng’enju yange omukazi agitutte, nga n’emmotoka zange bbiri zitundiddwa,” Omuzungu bwe yategeezezza.

Mathias yakwatibwa mu February 2018 oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebyokulwanyisa.

Poliisi yayaza amaka ge n’esangamu akasenge akeekusifu omwali emmundu, amasasi agakozesebwa mu mmundu ez’enjawulo, ebyambe, ebyambalo n’engatto z’amagye n’ebirala.

Kyokka agamba nti, mukyala we ono, alina olukwe lwe yapanga n’abamu ku baserikale ba poliisi okumubbako ennyumba, emmotoka n’ebintu ebirala bye yajja nabyo okuva mu Amerika era we waava okumukwata ne bamuggalira.

Yagambye nti, bwe baamukwata, Kayihura yawa ebiragiro obutaddamu kulinnya mu maka ge wadde okugenda okuggyayo ekintu kyonna.

Yagambye nti, ebiragiro bino, yabiwa amaze kulaba katambi Kaitesi ke yamulaga kyokka teyamuwa mukisa gwonna kwennyonnyolako n’alagira akwatibwe.

Yagambye nti, mukazi we Kaitesi, amutaddeko emisango mingi omuli ogw’okumutulugunya, n’okumumalako emirembe ky’alumiriza nti misango mipange nga waliwo aba poliisi n’abakungu ba Gavumenti abakiri emabega.

Mathias yagambye nti, yali muserikale wa poliisi mu Amerika, okumala emyaka 32 nga tannagenda mu kitongole kya Homeland Security mu 2014.

Yategeezezza nti, bwe yali akyali mu poliisi mu Amerika, yakwata abantu bangi abaakubanga bakyala baabwe era ne basibwa, n’ategeeza nti, tasobola kumenya mateeka ge yalayira okukuuma.

Twamusanze mu ofiisi ya looya we, Ladislaus Rwakafuzi ku Uganda House.

Yagambye nti, okuva lwe yayimbulwa ku kakalu ka kkooti, abadde yeewuuba ku kitebe kya poliisi e Naggulu ng’ayagala kulaba omuduumizi wa poliisi omuggya, Martin Okoth Ochola amusabe amenyewo ebiragiro bya Kayihura bye yamuteekako wabula kibadde tekinnakolebwa.

MULEKE KAYIHURA AWUMMULE MIREMBE - KAYIMA

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye nti Mathias n’abalala abalina okwemulugunya ku poliisi baleke Kayihura awummule baleme ku muteekako nsonga za poliisi.

Kayima yagambye nti, Mathias alina okwawula wakati w’emisango egimuvunaanibwa mu kkooti n’ensonga z’amaka ge.

Yagasseeko nti, eyali mukama we ‘banaatuuka n’okumuliisa byatalidde’.

Kino yakyogedde ayanukula ekibuuzo ku biragiro Kayihura bye yawa ku Mathias.

Kayima yagambye nti, Mathias bw’aba alina obutakkaanya bwonna ne mukyala we, alabe amakubo gaasobola okuyitamu okubugonjoola okusinga okubuteeka ku poliisi kubanga si ye yamumuwa.

Ku ky’emmotoka ezaatundibwa ng’ali mu kkomera, Kayima yategeezezza nti ekiraga obwannanyini bw’emmotoka ebeera kkaadi yaayo, era n’amuwa amagezi nti bw’aba kkaadi akyazirina, agende aggyeyo mmotoka ze yonna gye ziri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...