TOP

Bakutte 3 ku by'okuwamba omwana w'owa UPDF

Added 6th April 2018

Bakutte 3 ku by’okuwamba omwana w’owa UPDF

 Alyenyo eyabuze.

Alyenyo eyabuze.

ABANTU basatu be baakakwatibwa ku muyiggo gw’okuzuula Denis Alyenyo 33, mutabani wa Col. Francis Ongia akulira Operation Wealth Creation mu disitulikiti ye Amolotar eyawambibwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde. Alyenyo yabuzibwawo okuva ku nnyumba za Fred Kidhali Magamaga mu disitulikiti y’e Jinja we yali apangisa.

Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza nti abantu basatu okuli n’omuserikale wa UPDF baakwatibwa amagye ga UPDF nga mu kiseera kino bakuumirwa mu nkambi y’amagye e Magamaga. Andrew Mukuve 22, abadde mukwano gwa Alyenyo yakwatiddwa nga kigambibwa nti y’omu ku baasembayo okuba n’omuwambe.

Rose Nanyondo ow’e Magamaga, maama wa Mukuve yagambye nti mutabani we yakwatibwa Lwamukaaga. Kyokka yeemulugunya nti bukya akwatibwa tebamukkirizanga kulaba ku mutabani we wadde okumutwalira emmere gyalya. Wilber Isiko 26, omuserikale wa UPDF akolera e Magamaga naye yakwatiddwa olw’ebigambibwa nti yayawukana ne Alyenyo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro.

Olw’okuba nga abaamuwamba baamutwala kiro naye yakwatiddwa ayambeko mu kubuuliriza. Omuntu owookusatu eyakwatiddwa ye Medi Kigenyi nga naye abadde mukwano gwa Alyenyo bwe babadde batera okutambula.

Omuzigo Alyenyo gw’apangisa.

 

Okusinziira ku ngeri Alyenyo gye yawambibwamu nga baliraanwa tebawulidde, abanoonyereza bakkiriza nti ateekeddwa okuba nga yayitibwa oba okukonkonebwa omuntu gw’amanyi obulungi. Alyenyo abadde yaakamala omwaka gumu e Magamaga gy’avunaanyizibwa ku bya tekinologiya mu nkambi.

Yasooka kukolera Bombo mu sacco y’amagye eya Wazalendo oluvannyuma n’akyusibwa. BABIYINGIZZAAMU OMUWALA Mikwano gya Alyenyo abataayagadde kubaatuukiriza mannya baagambye nti omuwambe aliko omuwala gw’abadde apepeya naye, kyokka nga famire y’omuwala yamugaana okumuwasa, kyokka n’alemerako.

Balumiriza nti Alyenyo azze afuna okutiisibwatiisibwa kyokka nga babadde bakyali bonna. Mu kiseera we baamuwambira omuwala yali yavuddewo ggululimu ku Lwokusatu. Wadde nga ku Lwokutaano yakomawo n’abeerawo okutuusa ku Mmande naye tebaddangamu kumuwuliza wadde okumanya gy’ali.

Omuwala ono agambibwa okuba ng’ali lubuto lwa myezi ebiri, bagamba nti si mwanjulukufu nnyo ku nsonga za Alyenyo, ekireetera abantu okulowooza nti yandiba ng’alina ky’amanyi.

Waliwo n’amawulire agaabadde gasasaana nti Alyenyo yandiba nga yakwatibwa ekimu ku bitongole ebikuumaddembe, kyokka tekinnaba kukakasibwa. Emilian Kayima omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti kino talina ky’akimanyiiko.

FAMIRE EKYALI MU KUTYA Col. Francis Ongia, azaala Alyenyo yagambye nti bakyali beeraliikirivu kuba tebannaba kuzuula mutabani we gy’aggaliddwa. Yagambye nti tebannaba kuddamu kuwuliziganya na baawambye mutabani we kuba ennamba ye (eya Alyenyo) gye batera okukozesa mu kiseera kino yaggyiddwaako.

Aba famire mu kiseera kino beetegefu okukola buli kyonna ekisoboka okununula mutabani we okuva mu mikono gy’abantu b’atamanyi. Mwetegefu n’okuwaayo obukadde 15, singa aba afunye obukakafu nti bw’aziwaayo nga bayimbula mutabani we.

Obweraliikirivu bwa famire babuggya ku ngeri y’emu Susan Magara gye yawambibwa okumala wiiki ssatu, kyokka oluvannyuma n’attibwa kuba abaamulina baamanya nti abantu bangi ababalinnya akagere oluvannyuma lwa wiiki ssatu mu February w’omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...

'Amafuta' g'omusumba gaanzi...

GIFT Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika. Alumiriza omusumba gye yali...