TOP

Omusomesa yeewambye n'asaba mukazi we ssente

Added 6th April 2018

Omusomesa yeewambye n’asaba mukazi we ssente

 Wandera

Wandera

OMUSOMESA yeewambye n’apeeka mukazi we ssente! Andrew Luke Wandera 37, asomesa mu ssomero lya Namagabi SS e Kayunga omutuuze w’e Kireka - Kamuli Zooni C mu Munisipaali y’e Kira, mu Wakiso abeebyokwerinda bamuteebereza nti amanyi ku ngeri gye yawambiddwaamu ate n’ayimbulwa mu bwangu! Yeewambye oluvannyuma n’asaba mukazi we amuweereze ssente akakadde kamu n’emitwalo 80.

Kigambibwa nti Wandera bwe yabadde ava ewuwe ku Mmande, yatutte layini y’essimu ya mukazi we Ritah Nakanyike, ate ezize bbiri n’azireka emabega mu ngeri etaategeerekese bulungi. Mukazi we teyasoose kukifaako ng’alowooza nti bba mukwano gwe gumulinnye ku mutwe, amulekedde layini ze akakase nti amulina yekka.

Kyokka mu bbanga ttono yatandise okukubira mukazi we ku ssimu ye (ey’omusomesa) nga bw’alaajana nti, “Mukyala bampambye baagala ssente..., nkusaba okole kyonna ekisoboka onfunire1,800,000/- nsobole okusigaza obulamu.” Yabadde alaajaanira ku ssimu, nga waliwo amaloboozi g’abantu abalala nago agaayongedde okugamba nti, “Nnyabo kola nga balo bw’akugambye bw’otulwisa ono tugenda kumutta!” Omukyala yeekubidde enduulu mu b’ebyokwerinda nabo abaatandise omuyiggo.

Baba bataayizza buli nsonda mu bitundu mwe basuubira abawambe mwe bali, Wandera n’afubutuka gye yabadde ng’ajja awejjawejja n’abagamba nti abaabadde bamuwambye abasinzizza amaanyi n’abeesimattulako n’awona okufa! Bano abaalabise nga si bamativu, baamututte mu kitongole kya Flying Squad ekikulirwa Herbert Muhangi, n’abaako by’amubuuza wamu ne Capt. Okumu.

Bwe yavudde eno, yatwaliddwa e Kireka ku Poliisi gye yakoledde sitetimenti. Mu kunnyonnyola agamba nti abasajja abaamuwamba baali basatu nga batambulira mu mmotoka enzirugavu ey’ekika kya Toyota Mark II. “Waliwo mukazi wange lwe yabulwako densite ye oluvannyuma ne wabaawo eyamukubira essimu ng’amusaba amuwe emitwalo 4.

Ekyewuunyisa omuntu ono yaddira layini y’essimu ye n’agiwandiisa mu mannya ga mukazi wange ne nsoberwa ekigendererwa kye!,” Bwatyo Wandera bwe yannyonnyodde poliisi. Agamba nti waliwo abantu abatamwagaliza kuba na mukazi we nga bano abateebereza okubeera emabega w’okumuwamba.

Wabula ensonda mu banoonyereza ku musango guno oguli ku fayiro SD:41/02/04/2018 ziraga nti tezinnamatira bulungi na kunnyonnyola kwa Wandera. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti basanze obuzibu mu bujulizi bwa Wandera bwe yabawadde olw’okuba tebukwatagana bulungi. Waliwo endowooza nti yeewambye. “Nga Poliisi tugenda kukola ogwaffe tunoonyereze okutuusa lwe tunaafuna ekituufu,” Bwatyo Owoyesigyire bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...