TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababba mmotoka ne bazitema sipeeya poliisi ebakutte

Ababba mmotoka ne bazitema sipeeya poliisi ebakutte

Added 6th April 2018

Ababba mmotoka ne bazitema sipeeya poliisi ebakutte

EKITONGOLE kya poliisi ekikola ku misango egy’amaanyi, ekya Flying Squad, kikoze ekikwekweto ku babba mmotoka ne kikwata bamakanika abasoba mu 10 ababadde bazibba ne bazitema sipeeya.

Ekikwekweto kyatandikidde ku mmotoka ya Erisa Kyaligonza, Isuzu Elf UAX 489J gye babba e Kagadi ne bagireeta e Kampala bwe baagikwatidde ng’etemeddwa sipeeya ne basangayo n’endala ezabbibwa mu bitundu eby’enjawulo. Kyaligonza yagambye nti, mmotoka ye baagibba mu kiro kya Paasika ku ssaawa 6:00 okuva ku ssundiro ly’amafuta ku kyalo Kenga we yali esula.

Yagasseeko nti, ddereeva waayo, Businge Mwesigye ng’akolagana ne God Mwesigye nga bayambibwako Livingstone Mawejje makanika okuva mu Ndeeba okuliraana FACO, be babba mmotoka era ye yategeera nkeera nti mmotoka ye yabbiddwa. “Ekyasinga okutuyamba ababbi mu kupapa baasuula akapapula okwali ennamba z’essimu kwe twatandikidde ne tukwata God ne munne ne batulagirira e Kampala mmotoka gye baagitunda,” Kyaligonza bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, batuukidde ku poliisi emu mu Kampala kyokka ne basooka bababuzaabuza okutuusa lwe baagenze mu Flying Squad eyabayambye okugenda mu Ndeeba n’ezingako Galagi zonna.

Mmotoka ya Kyaligonza n’endala eziteeberezebwa okubeera enzibe zaasangiddwaayo nga bamaze okuzitema sipeeya nga n’ebitundu ebirala bamaze okubitunda poliisi n’ekwata buli makanika gwe yasanzeeyo.

Sipeeya wa mmotoka nnya (4) ne bamutikka ku loole bbiri ne bamutwala ku CPS nga bwe bakyanoonya ebirala. Livingstone Mawejje yategeezezza poliisi nti, mmotoka yagigula ku God Mwesige ng’era baali bakkiriziganyizza obukadde 9 n’asooka amuwaako busatu ng’endala yali waakuzimuwa ng’amaze okutunda mmotoka.

Ono yagambye nti, eno si ye mmotoka gy’asookeddeko, yaakabba ezisoba mu ttaano ng’azitema sipeeya n’asaba abalala abaabadde bakwatiddwa bateebwe. Kino kijjidde mu kiseera nga poliisi yaakamala okufulumya lipooti ku mmotoka ezaabbibwa mu 2017. Lipooti eyakolebwa Flying Squad yalaga nti, emmotoka 105 ze zaali zibbiddwa ate bodaboda zaali 109.

Omuduumizi wa Flying Squad, Herbert Muhangi yagambye nti, ekikwekweto ekyakoleddwa kyabadde kyakunyweza muyiggo gwe baliko ku babbi b’emmotoka bonna. Yagasseeko nti baakutte abantu abasoba mu 10 wabula bwe baalonzeemu, baakizudde nti abeenyigira mu bubbi buno bali basatu era be bagenda okusigaza abalala babayimbule ku kakalu ka poliisi.

Galagi zonna omwasangiddwa ebyuma by’emmotoka enzibe, byassiddwaako kkufulu n’abaserikale okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...