TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze be Kawempe beemulugunyizza ku bifo mwe bagula eby'okulya

Abatuuze be Kawempe beemulugunyizza ku bifo mwe bagula eby'okulya

Added 6th April 2018

Abatuuze be Kawempe beemulugunyizza ku bifo mwe bagula eby'okulya

ABATUUZE b’e Kawempe balaze okutya olw’abatundira eby’okulya mu bifo ebicaafu ekiyinza okubaviirako endwadde ez'enjawulo ne basaba ekitongole kya KCCA okusitukiramu ku nsonga eno . 

Abatunda eby’okulya ku nguudo z’omu kampala abasinga tebalina lukusa kuva mu kitongole kya KCCA ekiviriddeko buli omu okuteeka   bizinensi wasanze ku bano kuliko abatunda Chips ne nkoko , chapati , emmere enfumbe ,omucomo n’ebirala.

 E kawempe  eby’okulya bintu bitundibwa ku myala ,okumpi ne kasasiro ,okumpi ne kaabuyonjo n’ebirala .Jane Nantumbwe omutuuze w’omu kizza zooni e Kawempe yategeezezza nti bantu bangi bafuna endwadde ezenjawulo eziva ku bitundibwa mu bifo
ebicaafu naye nga bbo tebakimanyi , yagasseeko nti abasiika enkonko ne chips ku nguudo ne mu butale abasinga bibaddibako ne babitereka ne babyongerezzako enkeera .

Yayongeddeko nti ensonga eno bazze bagitegeeza aba KCCA bekikwatako naye tewali kikolebwawo ng’era ebikwekweto ebisinga ku by’okulya basinga ku bikola mu   super Market  ez'enjawulo  kyokka ng’abatundira ku nguudo ba bulabe nnyo kuba bbo ebidiba babisuzzawo ne babyongerezzako enkeera

 Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe gye buvuddeko yategeezezza nti kifuufu waliwo okwemulugunya ku bantu abatundira eby’okulya mu bifo ebicaafu  ng’ekitongole kya KCCA kirina okusitukiramu n’ekibalabula oluvannyuma n’ekiryoka  kibagobawo , yagasseko nti waliwo ensobi ezikolebwa abantu nga bakimaanyi kikyamu naye nga tebalinawo wantu
walala we bayinza kukolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...