TOP

UBC etubidde n'ebbanja lya buwumbi 15

Added 7th April 2018

ABADDUKANYA Ttivvi y'eggwanga ne leediyo UBC bali mu nteesaganya ne URA ku ngeri y'okusasula ebbanja ly'omusolo lya buwumbi 15.

 UBC bagibanja obuwumbi 15

UBC bagibanja obuwumbi 15

ABADDUKANYA Ttivvi y'eggwanga  ne Leediyo UBC bali mu nteesaganya ne URA  ku  ngeri y'okusasula ebbanja ly'omusolo lya buwumbi 15.

Omusolo ogubanjibwa UBC  guzze  gwetuuma omuva mu mwaka gwa 2009  okutuuka mu 2017  ng'omutemwa   gw'obuwumbi 15 guzingiramu  ng'amagoba agassibwaako.

Moses  Wasata , kamisona w'eby'empuliziganya mu Minisitule  yagambye nti   UBC ebadde  n'obuzibu mu nzikirukanya yaayo era  nga  y'emu ku nsonga lwaki etubidde mu buzibu buno kyokka n'gamba nti bugenda kugonjoolwa.

Wabula  bino  Stanley  Kabyemera, maneja mu URA  avunaanyibwa ku kusolooza  ensimbi z'omusolo yagambye kuno  tekwabadde kuweebuula linnya lya Ttivvi ya  ggwanga  wabula baabadde  batuukiriza  obuvunaanyizibwa n'okulaga obwerufu obuliwo mu kusolooza omusolo.

Omusolo  ogubanjibwa  UBC  gwegwo ogwaggyibwa ku musaala gw'abakozi ogwa  Pay As You Earn (PAYE), ogwa  VAT  n'oguggyibwa  ku nnyingiza ya ssente ze bafuna  ogwa  Income tax.

Wadde   nga  tebaatuuse  ku kukkaanya  kwa  nkomeredde  , URA yasazeewo okusooka okukwata mmotoka aa  UBC mukaaga era  nezitwalibwa ku kitebe kya URA e Nakawa  nga bwebalinda  enteseganya endala   nga  tebanasalawo  kya nkomeredde oba  basalibwa ku mpewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...