TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi wa Kibuli S.S agenze ku Poliisi n'alumiriza eyali Heedimaasita okumukabawaza nga teyeeyagalidde

Omuyizi wa Kibuli S.S agenze ku Poliisi n'alumiriza eyali Heedimaasita okumukabawaza nga teyeeyagalidde

Added 7th April 2018

Waliwo omuyizi eyasomerako ku ssomero lya Kibuli SS amize ppini n’agenda ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli n’awaayo obujulizi ng’alumiriza nti heedimasita Ali Mugagga yamukabawaza nga teyeeyagalidde.

 Ali Mugagga

Ali Mugagga

Waliwo omuyizi eyasomerako ku ssomero lya Kibuli SS amize ppini n’agenda ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli n’awaayo obujulizi ng’alumiriza nti heedimasita Ali Mugagga yamukabawaza nga teyeeyagalidde.

Omwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate, yakakasizza nti kituufu waliwo omuwala eyabatuukiridde era n’akola sitetimenti ku ntandikwa ya wiiki eno ng’aliko by’alumiriza Mugagga.

Ssekate yategeezezza nti, newankubadde omuwala ono yakoze sitetimenti, tebannaba kuggula musango gwonna ku Mugagga olw’ensonga nti ebimwogerwako okusinga bibadde biwulirwa mu ng’ambo nga tewali avaayo kumulumiriza mu lwatu. “Kati twakaggya sitetimenti ku bantu babiri, omu musajja n’omuwala.

Ssinga tufuna obujulizi obumala, fayiro tujja kugikwasa omuwaabi wa Gavumenti abeeko by’atuwabula n’oluvannyuma tulabe ekiddako,” Ssekate bwe yagambye. Wabula Ssekate yawakanyizza ebizze bifulumizibwa mu mawulire ebiraga nti abawala 18, be baalumirizza Mugagga.

“Twasalawo ne tuggulawo fayiro (General Inquiry File) era ne tutandika okunoonyereza ku nsonga eno oluvannyuma lw’okuwulira nti heedimasita waliwo abamwemulugunyaako nti abadde akabassanya abayizi naye tumaze ekiseera nga tulinda abaleeta obujulizi nga tetubalabako n’ebyabawala 18 betuwulira ffe tetubalabangako,” Ssekate bwe yayongeddeko.

Kigambibwa nti Hajji Ali Mugagga yassibwaako akazito ab’akakiiko akakulu akatwala essomero lya Kibuli SS, era n’alagibwa okuddako ebbali kisobozese abali mu kumunoonyerezaako okukola emirimu gyabwe obulungi.

Ku ntandikwa ya January Mugagga yalagirwa ofiisi agikwase abadde omumyuka we, Hajjat Mastulah Nambajjwe.

Ekiwandiiki ekyafulumiziddwa essomero kiragga nti okuva January 24, 2018 Hajjat Nambajjwe ye yabadde alina okubeera mu ofiisi.

Kino Mugagga yakikkiriza era n’akissa mu buwandiike nga January, 23, 2018.

Abamanyi Mugagga bagamba nti musajja mukugu mu byenjigiriza era nga tannaweebwa mulimu gw’e Kibuli, yasooka kubeera mumyuka wa heedimasita mu masomero okuli erya Nabisunsa Girls, Gombe ne Lubiri SS.

Ensonga zaatandika ng’omuyizi yeekubidde enduulu nti omukulu w’essomero, Hajji Ali Mugagga yali amukabassanya.

Emikutu gya Yintanenti kwaliko ebiwandiiko eby’enjawulo nga birumiriza Mugagga ebintu bingi okuli n’okuganza abayizi baasomesa.

Kino kyali kiraga nti tatandikidde Kibuli wabula azze akikola mu masomero gy’ayitidde nga Gombe SS ne Lubiri SS gye yava okugenda e Kibuli.

Mu January, minisitule y’ebyenjigiriza yataddewo akakiiko akaakuliddwa kominsona, Samuel Kuloba akanoonyereza ku Mugagga. Lipooti gye kaafulumizza tebaagitadde mu lujjudde wabula ensonda zaategeezezza nti eraga nti bye bamulumiriza yabikola era ensonga yazikwasizza poliisi eyongere okumunoonyerezaako.

March 5, 2018 olukiiko olufuzi olw’essomero nga luli ne Muhammed Kamulegeya omumyuka w’omukulu w’essomero, baatutte omusango mu kkooti enkulu nga bawawaabira Leonard Ronald Egesa okwonoona erinnya ly’essomero ng’awandiika nti waliyo abasomesa abasobya ku bayizi ne babasiiga obulwadde.

Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Sewankambo and Co. Advocates, baasabye kkooti eyise ekiragiro ekiyimiriza Egesa aleme kuddamu kuwandiika ku nsonga zino okutuusa ng’omusango guwuliddwa.

Baagala kkooti ewe ensala ng’eyimiriza Egesa okuddamu okuwandiika ekintu kyonna wadde okwogera ku ssomero lya Kibuli SS.

Nicholas Opio munnamateeka wa Egesa, yategeezezza Bukedde nti okusaba kwe baakoze nga baagala kkooti eyimirize Egesa okuwandiika ku ssomero ng’omusango tegunnaba kuwulirwa, kkooti yakuwulidde n’ekugoba.

Okusaba okumuyimiriza aleme kuddamu kuwandiika kintu kyonna ku ssomero oba abalikulira kugenda kuwulirwa mu June kyokka omusango gwennyini kkooti tennaba kuwa lunaku lw’erina kuguwulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....