
Ebbaluwa ekibiina ekigatta bbanka zonna mu Uganda gye kyayisizza
Bino biddiridde ebbaluwa eyawandiikiddwa ekitongole kya URA nga March 16, 2018 ng’essiddwaako omukono gwa kaminsona w’ebyemisolo Henry Saka ng’alagira bbanka zonna mu Uganda okuwa URA kalonda yenna akwata ku akawunta z’abantu be ziterekera ssente.
Saka yagambye nti, URA eyagala kusooka kufuna likoda zonna ez’akawunta z’abantu okuva nga January 1, 2016 okutuuka nga December 31, 2017 n’annyonnyola mu bbaluwa ye nti etteeka ly’ebyemisolo erya ‘Tax Procedure Code Act ‘ mu katundu 42, liwa URA obuyinza okulagira omuntu yenna oba ekitongole okugiwa bye yeetaaga mu kugereka n’okusolooza omusolo.
Kyokka bbanka nga ziyita mu kibiina kyabwe mwe zeegattira ekya Uganda Bankers Association baawandiikidde URA nga bagaana ekiragiro okuggyako nga Bbanka Enkulu emaze okulaga w’eyimiridde ku nsonga eno.
Akulira ekibiina Uganda Bankers Association (UBA) Wilbrod Humphrey Owor mu bbaluwa gye yawandiikidde URA nga March 24 yagambye nti, Bbanka ssi za kussa mu nkola ekiragiro kya URA okuggyako nga Bbanka Enkulu emaze okuluhhamya.
Ssentebe w’ekibiina ekya UBA, Fabian Kasi, era nga y’akulira Centenary Bank yagambye nti ekiragiro kya URA ssi kya kussibwa mu nkola okutuusa ng'okwebuuza kukoleddwa ku mitendera gyonna.
Bannamateeka abamu baatiisizza okuwawaabira bbank yonna enaawaayo ebikwata ku akawunta z’abantu kubanga ekyo kimenya mateeka okwanika ebyama bya bakasitoma baabwe.