TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba ayogedde ku by'abadde mu kafubo ke ne Pulezidenti

Ssaabasumba ayogedde ku by'abadde mu kafubo ke ne Pulezidenti

Added 10th April 2018

Ssaabasumba ayogedde ku bw'abadde mu kafubo ke ne Pulezidenti

 Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ne Pulezidenti mu kafubo kaabwe.

Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ne Pulezidenti mu kafubo kaabwe.

AKAFUBO ka Pulezidenti Museveni ne Dr. Cyprian Kizito Lwanga kaamaze essaawa nnya nga Ssaabasumba annyonnyola omukulembeze w’eggwanga ebimunyiga naddala ekya bambega b’ebitongole ebikessi abafumbirira n’okuyiiyiriza ebintu ku Eklezia nga bagenderera okwefunira ssente mu Gavumenti.

Ssaabasumba yakwasizza Pulezidenti Museveni olukalala lwe baamusuulidde gye buvuddeko okuli bannaddiini abagambibwa okukolera ebitongole ebikessi nga ISO, ESO ne CMI kyokka nga batwala bulimba bwereere mu bakama baabwe okufera ssente.

Baasisinkanye ku Ssande akawungeezi mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero ng’akafubo kaabwe kaatandise ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo ne kakomekkerezebwa nga ziyise mu ssaawa 3:00 ez’ekiro ekyakeesezza Mmande. Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g’Obwapulezidenti kyategeezezza nti Pulezidenti yasisinkanye Ssaabasumba Lwanga mu kyama kyokka tekyalambuludde biki byayogeddwaako mu kafubo kano.

Wabula Ssaabasumba Lwanga bwe yabadde mu Lutikko ya St. Mary’s e Lubaga eggulo ku Mmande ng’akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa eky’okwebaza Katonda olw’okuweza emyaka 40 egy’obuweereza, yannyonnyodde ku byabadde mu kafubo ke ne Pulezidenti.

Dr. Lwanga yategeezezza nti ku Ssande emisana yafunye obubaka okuva ewa pulezidenti ng’amuyita boogere ku nsonga z’azze ayogerako ezikwata ku bambega mu Klezia omuli ne bannaddiini ebitongole ebikessi bye baawandiika okubikolera obwambega. ‘’Akafubo kaffe kaakulungudde essaawa nga nnya nnamba okuva ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo okutukira ddaala ku 3:00 ez’ekiro era kaagenze okuggwa nga pulezidenti ankakasizza nga bw’agenda okukola ekyetaagisa okunoonyereza ku nsonga zonna ze nayogerako,” Ssaabasumba bwe yagambye Yayongeddeko nti, “ababadde balowooza nti nnimba ….. olukalala nnalufuna era nnalukwasizza Pulezidenti.

Ku lukalala kwaliko bannaddiini Abasiraamu, Abasodokisi n’ab'e Kkanisa ya Uganda n'Abakatoliki kyokka nga bano abamukwatako waakugasimbagana nabo. Ekirungi Eklezia erina ebibonerezo ebiragiddwa ku buli musango ….” Dr. Lwanga bwe yategeezezza Pulezidenti Museveni okusisinkana Ssaabasumba wabadde waakayita wiiki emu yokka okuva ku Mmande ewedde nga April 2, 2018 Museveni lwe yakubira Lwanga essimu ne boogera ku kwemulugunya kwe yali atadde mu lujjudde mu kwogera kwe mu Mmisa ya Paasika ne ku Good Friday.

Mu kwogera kwe, Ssaabasumba yagugumbula bambega abawa Pulezidenti olugambo olufu nti bafera mufere okumufunamu ssente n’abawa amagezi (bambega ) nti nabo kibakakatako okukola omulimu gyabwe mu mazima n’obwesimbu. "Abantu abakuwa amawulire amakyamu be balabe bo nnamba emu era bw’otaabeegendereze bagenda kukukozesa ensobi bakusuule,’’ Ssaabasumba Lwanga bwe yategeezezza.

Mu kafubo kaabwe, Ssaabasumba yakakasizza Pulezidenti Museveni nga bwe batamulinaako buzibu kyokka n’amujjukiza okukola ekituufu nga bwe yalayira okuweereza Bannayuganda nga yeesigama ku motto y’eggwanga egamba nti ‘’Ku bwa Katonda n’ensi yange” Wiiki ewedde Ssaabasumba yategeezezza nti abakuumi b’omu maka ge be baagudde ku bbaluwa eno ku makya ne bagisumulula nga mulimu olukalala olunene olw’abantu nga bonna bannaddiini n’ebitongole bye bakettera okuli ISO, ESO ne CMI.

Okwogera bino, Dr. Lwanga yali yaakamala okunnyonnyola ku lukwe lwe yasimattuse, mmotoka etaabaddeko nnamba bwe yasimbye okumpi ne ggeeti y’amaka ga Ssaabasumba ag’e Lubaga kyokka abakuumi bwe baagezezzaako okwahhanga eyagibaddemu, n’agikuulawo omulundi gumu kumpi kwagala kugibatomeza. “ Kirabika oli yabadde alowoozezza nti nja kuyita mu ggeeti ntambuze bigere okugenda ku Lutikko olwo anve emabega ansaabale naye mukama y’atuwa obukuumi”, Ssaabasumba bwe yategeezezza.

Yategeeza nti waliwo emmotoka endala etaategeerekese nnamba eyagenze n’ekyukira ku ggeeti y’amaka ga Ssaabasumba e Lubaga. “Emmotoka eno yazze kiro, era abakuumi baagenze okwetegereza ng’emmotoka eno esudde ebibaluwa ebirimu obubaka obulaalika okutuusa obulabe ku Ssaabasumba,” Ensonda e Lubaga bwe zaategeezezza.

Ebyo okubeerawo nga waakayita ennaku ntono ng’omusajja eyeeyita mbega mu kitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO akubidde Ssaabasumba essimu ng’amulabula okwegendereza by’ayogera kubanga ayinza okufuna obuzibu ng’obwatuuka ku Janaan Luwuum eyali Ssaabalabirizi wa Uganda eyattibwa ku mulembe gwa Iddi Amin.

DR. LWANGA AKUZIZZA EMYAKA 40 MU BUWEEREZA Mmisa y’okukuza emyaka 40 egy’obuweereza eyabadde mu Lutikko e Lubaga yeetabiddwaako Abasosorodooti Dr. Lwanga be yafuna nabo obwafaaza mu 1978, Dr. LLwanga yawadde n’omuseminaliyo Leonard Denis Walugembe okuva mu kibiina kya Neocatechumenal Way Redemptoris Obudyankooni.

Yasabye omudyankooni Walugembe okunywerera ku birayiro bye yakubye naddala eky’okugumira obwavu n’obutawasa n’okujjukiranga Pulezidenti ne Ssaabasumba Lwangabeesozze akafubo bulijjo nti obunnaddiini kubeera kuyitibwa. Yacoomedde abawala n’abakazi abeetunda ssaako abambala enkunamyo mu Klezia b’agamba nti baleetera bannaddiini okugwa mu kukemebwa ne bamenya bye baalagaanya omukama.

Agamba nti ebikolwa eby’okwetunda bivudde ku bwavu obweyongedde ennyo mu ggwanga n’asaba gavumenti okwongera amaanyi mu kubulwanyisa. Asabye bannaddiini okusigala nga bawulize eri abasumba baabwe n’okunywerera ku masaakalamentu ge bafuna ssaako amateeka ga Katonda 10. Omusumba w’essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa, eyali omusomesa waabwe mu seminaliyo enkulu e Ggaba mu 1978, we baafunira obusasorodooti asabye bannaddiini okubwagazisa abalala n’okubayamba okubutuukako.

Ye omudyankoni Walugembe olumaze okukuba ebirayiro bye ne yeeyama okunywerera ku butume bw’ayingiddemu n’okuweereza Omukama. Bannaddiini abalala abeegasse ku Ssaabasumba okujaguza emyaka 40 mu buweereza kuliko; Msgr.Charles Kasibante Vika.Gen wa Kampala, Fr.Barnabus Magezi, Fr.Joseph Logobe, Fr.Paul Muganga, Fr.Chales Kizito Lugenda, Fr. Izidolo Mbareba,Fr.Andrew Zziwa ne Fr.Domic Mwebe. Ye Fr. Dr. Joseph Mary Ssebunnya era nga ye Cansala w’essaza ekkulu ery’e Kampala teyasobodde kubaawo olw’okufiirwa Kitaawe, Tiica Matia Kakande, 97.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...