TOP

Mutebile ayogedde ku bbeeyi y'ebintu erinnya

Added 10th April 2018

Mutebile ayogedde ku bbeeyi y’ebintu erinnya

 Polof. Mutebile

Polof. Mutebile

GAVANA wa Bbanka Enkulu Polof. Emmanuel Tumusiime Mutebire agambye nti emiwendo gy’ebintu gisuubirwa okulinnya mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja. Yagambye nti kino kiyinza okuva ku misolo egiggyibwa ku by’amaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga ng’amafuta ne ssente z’amawanga g’ebweru ze basinziirako nga bbanka ez’obwannannyini ziwola abantu.

Mutebire yabadde mu lukuhhaana lw’abamawulire olwatudde ku Bbanka Enkulu mu Kampala eggulo (Mmande) n’agamba nti newankubadde waliwo okukula mu byenfuna, obusobozi bw’abantu okugula n’okusuubula bukyali wansi. Yasoose kutegeeza nti emiwendo gy’ebintu ng’amafuta n’ebikozesebwa ebirala tegirinnye nnyo mu kiseera ekiyise nga bwe baali basuubira. Okunaabuuka kw’ensinbi nga twesigama ku miwendo gy’amafuta kuvudde ku bitundu 10.3 ku buli 100 mu March okuva ku 11.2 ku buli 100 kwe bwali mu February.

Yannyonnyodde nti ebyenfuna bw’abeera muntu nga mulwadde abeera atandise okukuba ku matu. Ebipimo Bbanka Enkulu by’ekozesa biraga bulungi nti mu mwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 waliwo okugenda mu maaso. Okusinziira ku kunoonyereza okuva mu kitongole kya UBOS kulaga nti okukulaakulana okutuukiddwaako mu 2017 kuli ebitundu 6.3 ku 100 okuva ku 3.0 ku 100 mu 2016.

Yannyonnyodde nti ebitundu ebisinze okuyambako okutuuka ku kukula kw’ebyenfuna kuliko, ebyobulimi, empeereza ez’enjawulo ng’amalwaliro, entambula n’ebirala bikuze ne bituuka ku 8.1 ku buli 100 okuva ku 4.5 ku 100 nga bwe byali mu 2016 ate amakolero gakuze okuva ku 4.2 ku buli 100 gye gaali mu 2016 okutuuka ku 4.

4 ku buli 100 mu 2017. Mutebire yannyonnyodde nti ebyenfuna bitambudde bulungi okusinga bwe baali babirowoozezza okubeera bwe baasisinkana n’abakugu mu February w’omwaka guno. Okusinziira ku mbeera eno basuubira okukendeera kw’ebbula ly’emirimu mu mwaka gw’ebyenfuna ogujja 2018/19. Embeera eyo esuubirwa okuva ku bitongole ebyenjawulo okuli eby’obwannannyini n’ebya Gavumenti okutandikawo emirimu, okwongera okutumbula ebyobulimi n’okuteekawo enkola ezisobola okulwanyisa embeera eyandibadde eviirako okufiirizibwa mu byensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...