TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka abakkirizza obukadde 29 babasseeko ogw'okubba eggwanga - Lukwago

Ababaka abakkirizza obukadde 29 babasseeko ogw'okubba eggwanga - Lukwago

Added 11th April 2018

BALOOYA abawoza omusango gw’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti basabye kkooti erangirire nti ababaka bonna abakkiriza obukadde 29 ezaabaweebwa okwebuuza ku Bannayuganda babba ssente z’eggwanga.

 Looya Erias Lukwago ng'ayogera n'omubaka Ssemuju Nganda n'abalala abaloopa omusango gwa Togikwatako

Looya Erias Lukwago ng'ayogera n'omubaka Ssemuju Nganda n'abalala abaloopa omusango gwa Togikwatako

Balooya bakulembeddwamu Erias Lukwago, Wandera Ogalo, Radislus Rwakafuzi ne Male Mabiriizi.

Lukwago ategeezezza kkooti nti, ababaka ssente zaabaweebwa mu bukyamu na mu bumenyi bw’amateeka kubanga baali bakimanyi nti bababbika maaso kuyisaawo tteeka lino nabo ne bakkiriza nga kino kitegeeza nti buli mubaka eyakkiriza ssente yabba ssente z’omuwi w’omusolo.

Lukwago ategeezezza abalamuzi nti akawaayiro nnamba 93 aka Ssemateeka kakugira Palamenti okumala gayisa ebbago singa liba n’engeri gye ligenda okukosaamu ensawo y’eggwanga.

Annyonnyodde nti Palamenti kye yandibadde ekola mu mbeera eno kyali kya kuweereza bbago mu ministule y’ebyensimbi ne lisooka liteesebwako okukakasa nti, singa liteesebwako oba ne liyisibwa teririna ngeri gye ligenda kukosaamu nsawo ya Gavumenti ekitaakolebwa.

Kubanga bakimanya nti bongeddemu akatundu k’okwongezaayo ekisanja ky’ababaka ba Palamenti emyaka ebiri ekitegeeza nti ssente ezibasaasanyizibwako zeeyongera ekintu ekyali tekitegekeddwa.

Okuwulira omusango gw’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kUyingidde olunaku olwokusatu e Mbale era wabaddewo katembe okuva mu bavubuka abazze nga bakutte ebipande nga bagamba nti, bazze kwongera Balamuzi maanyi bawulire omusango awatali kyekubiri. Bano bagezezzaako okuyingira mu kkooti wabula poliisi n’ebakugira.

Looya James Byamukama ategeezezza kkooti nti mu kifo kya Palamenti okuyisa etteeka eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti yandibadde ekomyawo ebisanja okumalawo emivuyo gyonna eggwanga lye gitubiddemu kati.

Byamukama era aleese obujulizi bw'ebiwandiiko bya Palamenti omubadde n’ebbaluwa amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti, Mwesigwa Rukuntana (eyakulembeddemu balooya ba Gavumenti abawagira etteeka) gye yawandiika ng’alabula Palamenti nti terina buyinza kukola nnongoosereza mu Ssemateeka nga tesoose kwebuuza ku balonzi.

Omusango guno guwulirwa abalamuzi 5 okuli; amyuka Ssaabalamuzi; Alfonse Owiny- Dollo, Remmy Kasule, Kenneth Kakuru, Cheborion Barishaki ne Elizabeth Musoke. Ku nsonga 13, kkooti z’erina okuwulira okusalawo oba nga etteeka eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti lyayisibwa mu mateeka, abalamuzi bakawulirako musanvu.

Abantu bataano be baaloopa emisango gya ‘Togikwatako’ omuli, abalooya abeegattira mu kibiina kya Uganda Law Society, Male Hassan Mabiriizi, Karuhanga Kafureeka ne Jonathan Abaine. Omusango guddamu enkya ku Lwokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.