TOP

Taata alumirizza maama okutta muwala we

Added 13th April 2018

ABANTU bataano bakwatiddwa ku kutemula omusuubuzi eyali akolera ku Luwum Street mu Kampala, eyawambibwa emisanattuku!

Swaibu Senkunja eyali bba wa Elizabeth Nakato (eyattibwa) ye yasoose okukwatibwa ne mukyala we Racheal Nakyeyune oluvannyuma lw’okumenya ekisenge ky’omugenzi nga yaakafa e Ggangu B, mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo ne baggyamu ebiwandiiko by’omugenzi.

Omugenzi yava ku dduuka lye ku Luwum Street ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo oluvannyuma lw’okufuna essimu, nga banne bwe baamubuuza gy’alaga yabategeeza nga bwe yali agenze okukutula ddiiru.

Obujulizi obwakavaayo bulaga nti, olukwe lwandiba nga lwakolebwa aba famire okwali nnyina amuzaala ne baganda be.

Maama w’omugenzi, Nnaalongo Proscovia Najjuma Nakkungu naye poliisi yamukutte nga kigambibwa nti aludde nga yeewerera okutta muwala we era babadde tebalabagana.

Poliisi yataasa maama wa Nakato ku bakungubazi abaali baagala okumugajambula n’atwalibwa ku poliisi y’e Matugga ettemu gye lyakolebwa.

Kigambibwa nti maama w’omugenzi yakkiriza nti kituufu baalina obutakkaanya ne muwala we nga buva ku ttaka, kyokka ne yeegaana eky’okuba nga yali yeenyigira mu kumutta.

Oluvannyuma poliisi yamuyimbudde ku kakalu kaayo olw’okuba mulwadde.

Pius Mugambwa, mwannyina wa Nakato naye yakwatiddwa, abakola n’omugenzi bagamba nti yamukubira essimu ku lunaku lwe yattibwa kyokka nga beewuunya okulaba nga mu kuziika teyalabiseeko.

Ensonda zaategeezezza nti waliwo n’omukozi abadde akolera Nakato eyakwatiddwa, nga kigambibwa nti poliisi esinga kumwagalamu mawulire gakwata ku mugenzi okuva bw’abadde mukwano gwe.

Mugambwa mu sitetimenti gye yakoze ku poliisi e Matugga yakkirizza nga bwe yakubira omugenzi essimu ng’amufunidde abagula poloti ye esangibwa e Bukeerere mu disitulikiti y’e Mukono. Yagambye nti yakanda kulinda mugenzi nga tamulaba.

Bwe yabuuziddwa ekyamugaana okuziika yagambye nti teyamanya bya kufa era agenda okukitegeera nga n’okuziika kuwedde.

Kyokka naye yasonze ku nnyina abazaala Nnaalongo Najjuma n’agamba nti alabika alina ky’amanyi kuba abadde ku mbiranye n’omugenzi.

Yategeezezza nti; “maama yali angula obukadde busatu muttire omugenzi kyokka ne mbigaana. Kyokka kye nsuubira muganda wange omulala ayinza okuba nga ye yali mu lukwe kuba bwe basinga okukola ebintu byabwe ne maama.”

Poliisi eyogedde Robert Kaccumu, akulira poliisi y’e Kasangati yagambye nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso era waliwo abantu be baafunyeeko obujulizi obuyinza okubayamba okuzuula abatemu.

Yagambye nti wadde maama yayimbuddwa kyokka bajja kumuyita ekiseera kyonna abeeko byatangaaza.

Abaakwatiddwa poliisi yabaggyeeko essimu zaabwe zibayambe mu kunoonyereza.

TAATA W’OMUGENZI ALUMIRIZZA MUKYALA WE

Okutta muwa la we Ssaalongo David Ssendagire , taata w’omugenzi yalumirizza mukyala we Nnaalongo Najjuma okubeera emabega w’okutta muwala we Yategeezezza nti obuzibu bwava ku Nnaalongo okutunda ettaka ly’abaana nga tabagambye kyokka bwe baagezaako okulimusuuza n’anyiiga n’atandika okubeewerera okubatuusaako obulabe okutuusa omu lwe yafudde.

Yasabye poliisi obutajja Nnaalongo ku musango kuba engeri gy’abadde yeeweramu alabika ng’alina ky’amanyi ku kufa kwa Nakato.

Edith Nantongo abadde nfa nfe wa Nakato yagambye nti, omugenzi abadde akimugamba nti alina entalo z’ettaka mu famire era nga waliwo n’abeewera okumutta singa talyesonyiwa.

N’asaba poliisi ekole okunoonyereza ensobole okuzuula ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...