TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Ham awabudde Gavumenti ku tteeka ly'obupangisa

Omugagga Ham awabudde Gavumenti ku tteeka ly'obupangisa

Added 14th April 2018

Omugagga Ham awabudde Gavumenti ku tteeka ly'obupangisa

 Omugagga Hamis Kiggundu owa Ham Towers ng'annyonnyola

Omugagga Hamis Kiggundu owa Ham Towers ng'annyonnyola

OLUVANNYUMA lwa minister wa Housing Chris Baryomusi,okuvaayo ku ntandikwa ya wiiki eno n'ategeeza eggwanga nga Gavumenti bw'egenda okuleeta etteeka erimanyiddwa nga Land lord and tenant bill erikwata ku bupangisa abantu ab'enjawulo bavuddeyo ne boogera kiki ekyalibadde kikolebwa ng'etteeka lino terinnanyisibwa

Omugagga Ham ng'ali ku kizimbe kye ekya Ham Towers ekisangibwa e Makerere

Etteeka lino lyogera ku bupangisa ne bannanyini bizimbe ate nga bwe linaakakasibwa lijja kuba teritaliza muntu apangisa kizimbe kinene oba kitono

Ebimu ku biri mu tteeka lino mulimu bannanyini bizimbe mu Kampala obutaddamu kusolooza bapangisa ssente mu Dollors ekitegeeza nti  etteeka lino bwe linaaba likakasiddwa  tewali mugagga yenna mu kibuga Kampala ajja kuddamu kusolooza ssente ku bapangisa mu Dollors bajja kuba bazisasulira mu shillings.

Omupangisa talina kusasula ssente zisukka mwezi esatu okuggyako nga yeeyagalidde,

Omupangisa ajja kuba takyamala gagobwa mu nnyumba nga tafunye kiragiro kya kkooti, ssaako n'okwongeza omupangisa obutasukka bitundu 10 ku 100.

Omugagga Ham ng'alaga Pulezidenti Museveni alipoota y'okukulaakulanya ekisaawe ky'e Nakivubo gye buvuddeko

Olwaleero Bukedde eyogeddeko n'omu ku basuubuzi abatutumufu mu ggwanga Omugagga Hamis Kiggundu  amanyiddwa ennyo nga Ham owa Ham towers  n'alambulula ensonga eziwerako z'alowooza nti zeezandibadde ziteekebwako essira mu kifo ky'okuyisa obuyisa etteeka.

Omugagga Ham agambye nti bino byonna tebisobola kukola nga Uganda terina makubo matuufu mweggya ssente. Gavumenti erina okuddayo ku misingi emituufu egitambuza economy ya Uganda ng'eyita mu kutumbula eby'obulimi.

Ham agambye nti Gavumenti erina okutumbula eby'obulimi naddala okubifuula eby'omulembe ng'ebintu ebiva mu kulima birabirirwa bulungi, by'ongerwako omutindo ssaako n'okubikolamu ebintu ebikozesebwa mu ggwanga.

Ham nga'li ku kizimbe kya ekya Ham Towers ekisangibwa e Makerere
 
Omugagga ayongeddeko nti enkola y'okutumbula eby'obulimi bweneeba ekwatiddwa bulungi bannayuganda kijja kubayambako okwekulaakulanya olw'ensonga nti bannayuganda ebintu ebisinga obungi babiggya wabweru wa ggwanga kati kino kitegeeza nti bwebabeera basobodde okwefunira ebintu ebyabwe kitegeeza nti kiba kibayambako okutumbula eby'amaguzi byabwe munda mu ggwanga n'okugaziya ku katale mu mawanga g'ebweru.

Ham ayongeddeko nti ekyo bwe kinaaba tekikoleddwa ne bino byonna Gavumenti byeriko tebijja kubaamu mulamwa olw'ensonga nti abantu baavu tebalina webaggya ssente kyokka ng'okulima kusobola bulungi okubabbulula okweggya mu bwavu.

Ham ayongeddeko nti ekintu ky'okuyimiriza okusolooza ssente z'obupangisa mu Dollar kikyamu kubanga nabo bwe babeera bazimba ezimbe beewola ate bwebabeera babawola babawolera mu Dollar ate abagagga ekibeewozesa mu Dollar si kwagala wabula economy ya Uganda nnafu.

Omugagga Ham ate emabega kye kisaawe kye Nakivubo ky'ali mu kuzimba

Bbanka ezisinga ziwola obukadde 10 obwa Dollar tezisukka wo kitegeeza nti bw'obeera olina business ey'amaanyi esussa ssente ezo obeera olina okugenda okunoonya ensimbi endala mu Bbanka z'abazungu ate zo zimanyiddwa nti ssente zaabwe zibeera mu Dollars.

Bwembeera nnafuna ssente Bbanka nga baazimpeera mu Dollars kitegeeza nti nnina kuzizzaayo mu Dollars kati n'omupangisa kitegeeza abeera alina kunsanulira mu Dollar okusobola okufuna ssente zenzizaayo mu Bbanka" Bwatyo omugagga Ham bw'ategeezezza.

  

Ham ng'ali mu maka ge

Ham amalirizza ng'akubiriza bannayuganda okutandika okwekkiririzaamu balekere awo okwogereranga mu ssente  ennyingi ate nga tebalina ssente. 

Omuntu agenda n'abeera n'obukadde 2 zonna n'azissa mu kulya ng'alowooza mbu tezirina kyeziyinza kukola nga yeerabidde nti ezo millions ebbiri asabola okuzikozesa business ejja mu ssente ezo n'afuna entandikwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...