TOP

Ssentebe bamukunyizza ku by'ettaka

Added 14th April 2018

Ssentebe bamukunyizza ku by’ettaka

 Male

Male

SSENTEBE w’ekyalo agambibwa okukuma omuliro mu batuuze bookere Abalabirizi ku ttaka e Mukono eggulo yagasimbaganye n’akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka. Baamulagidde annyonnyole ekimuwaga okutuuka ku kwagala okutuusa obulabe ku bannannyini ttaka kw’alina ekibanja. Mose Male Byekwaso gaamwesibidde mu kakiiko nga munnamateeka John Bosco Suuza mutadde ku nninga annyonnyole oludda kw’agwa ku ttaka erikaayanirwa aba famire ya Ham Mukasa n’ekkanisa ya Uganda okutudde yunivasite ya Uganda Christian University (UCU).

Male yayanukudde nti omwana bw’abeera awaka n’alaba taata ne maama nga bayomba tayinza kussaayo kikye kubanga tayinza kumanya ani anaawangula ku bonna.

Suuza yawadde Male ekyapa n’amulagira okusoma ebigambo ebiriko kwe kutegeeza nti yabadde asobola kusomako kigambo ‘Uganda ne Land’ Baabimusomedde oluvannyuma Suuza n’amubuuza nti nga bw’amaze okulaba ekyapa yabadde wa ddembe okunnyonnyola ani gw’alaba nga taata oba maama ku UCU ne famire ya Ham Mukasa.

Yayanukudde nti bulijjo baabuzaabuzibwa nga tebamanyi ani nnannyini omutuufu kyokka engeri gye yategedde nti UCU erina ekyapa, talina buzibu kukolagana nabo kubanga ye wa kibanja.

Gye buvuddeko, Omumyuka wa Cansala wa UCU, Rev. Dr. John Ssennyonyi bwe yabadde mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko, yategeezezza nti Male ne Robert Waswa atwala ebyokwerinda ku kyalo be baakulemberamu okukuma omuliro mu bantu okukola obulabe ku bakozi ba UCU n’ekkanisa buli lwe bagezaako okubeerako kye bakolera ku ttaka lino. Ettaka erigulumbya ekkanisa n’abantu liri ku bulooka 99 poloti 22.

Liweza mayiro emu ne yiika mwenda (yiika 649.2). Kuno kwe kutudde UCU era ekyapa kiri mu mannya ga kkampuni ya UCU Holdings. Omulamuzi yamubuuzizza annyonnyole enkolagana ye ne Minisita Ronald Kibuule kubanga baamwogera nti gw’akolagana naye okutiisa ab’ekkanisa.

Male yayanukudde nti amanyi kimu nti Kibuule alina poloti gye yafuna ku ba famire y’omukadde Nakandi eyali omulwadde ne bakkaanya amusasulire ebisale by’eddwaaliro bamuwe poloti era kuno kwe yazimba ennyumba. Akakiiko kaatadde Male ku nninga annyonnyole lwaki buli ab’ekkanisa lwe babadde bagezaako okuteesa n’abantu ng’abakumamu omuliro beegugunge.

Omulamuzi yayongedde okumutegeeza nti okusinziira ku kunoonyereza akakiiko kwe kakoze bakimanyi nti Male effujjo alikola ali ne Robert Waswa atwala ebyokwerinda ku kyalo. Yamutegeezezza nti baakizudde nga waliwo abantu Male b’akumamu omuliro bawawaabire ekkanisa era amagezi gabaweebwa munnamateeka Peter Mulira kubanga bwe yabadde mu kakiiko nga tekannaba kuwummula kugenda mu Paasika yazze n’awa obujulizi ng’alaga nti ye muzzukulu wa Ham Mukasa.

Male yeegaanyi okukolagana ne Mulira. Yeeyamye nti engeri gy’ategedde nti UCU erina ekyapa talina buzibu kutuula nabo asobole okutereeza ebikwata ku kibanja kye kubanga alinako poloti mukaaga ze yagula ku famire y’omugenzi Jingo

SSENTEBE w’ekyalo agambibwa okukuma omuliro mu batuuze bookere Abalabirizi ku ttaka e Mukono eggulo yagasimbaganye n’akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka. Baamulagidde annyonnyole ekimuwaga okutuuka ku kwagala okutuusa obulabe ku bannannyini ttaka kw’alina ekibanja. Mose Male Byekwaso gaamwesibidde mu kakiiko nga munnamateeka John Bosco Suuza mutadde ku nninga annyonnyole oludda kw’agwa ku ttaka erikaayanirwa aba famire ya Ham Mukasa n’ekkanisa ya Uganda okutudde yunivasite ya Uganda Christian University (UCU). Male yayanukudde nti omwana bw’abeera awaka n’alaba taata ne maama nga bayomba tayinza kussaayo kikye kubanga tayinza kumanya ani anaawangula ku bonna. Suuza yawadde Male ekyapa n’amulagira okusoma ebigambo ebiriko kwe kutegeeza nti yabadde asobola kusomako kigambo ‘Uganda ne Land’ Baabimusomedde oluvannyuma Suuza n’amubuuza nti nga bw’amaze okulaba ekyapa yabadde wa ddembe okunnyonnyola ani gw’alaba nga taata oba maama ku UCU ne famire ya Ham Mukasa. Yayanukudde nti bulijjo baabuzaabuzibwa nga tebamanyi ani nnannyini omutuufu kyokka engeri gye yategedde nti UCU erina ekyapa, talina buzibu kukolagana nabo kubanga ye wa kibanja. Gye buvuddeko, Omumyuka wa Cansala wa UCU, Rev. Dr. John Ssennyonyi bwe yabadde mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko, yategeezezza nti Male ne Robert Waswa atwala ebyokwerinda ku kyalo be baakulemberamu okukuma omuliro mu bantu okukola obulabe ku bakozi ba UCU n’ekkanisa buli lwe bagezaako okubeerako kye bakolera ku ttaka lino. Ettaka erigulumbya ekkanisa n’abantu liri ku bulooka 99 poloti 22. Liweza mayiro emu ne yiika mwenda (yiika 649.2). Kuno kwe kutudde UCU era ekyapa kiri mu mannya ga kkampuni ya UCU Holdings. Omulamuzi yamubuuzizza annyonnyole enkolagana ye ne Minisita Ronald Kibuule kubanga baamwogera nti gw’akolagana naye okutiisa ab’ekkanisa. Male yayanukudde nti amanyi kimu nti Kibuule alina poloti gye yafuna ku ba famire y’omukadde Nakandi eyali omulwadde ne bakkaanya amusasulire ebisale by’eddwaaliro bamuwe poloti era kuno kwe yazimba ennyumba. Akakiiko kaatadde Male ku nninga annyonnyole lwaki buli ab’ekkanisa lwe babadde bagezaako okuteesa n’abantu ng’abakumamu omuliro beegugunge. Omulamuzi yayongedde okumutegeeza nti okusinziira ku kunoonyereza akakiiko kwe kakoze bakimanyi nti Male effujjo alikola ali ne Robert Waswa atwala ebyokwerinda ku kyalo. Yamutegeezezza nti baakizudde nga waliwo abantu Male b’akumamu omuliro bawawaabire ekkanisa era amagezi gabaweebwa munnamateeka Peter Mulira kubanga bwe yabadde mu kakiiko nga tekannaba kuwummula kugenda mu Paasika yazze n’awa obujulizi ng’alaga nti ye muzzukulu wa Ham Mukasa. Male yeegaanyi okukolagana ne Mulira. Yeeyamye nti engeri gy’ategedde nti UCU erina ekyapa talina buzibu kutuula nabo asobole okutereeza ebikwata ku kibanja kye kubanga alinako poloti mukaaga ze yagula ku famire y’omugenzi Jingo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo