TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Masaka beekulisizza oweebijambiya gwe basse; Baweereddwa akasiimo ka bukadde 10

Ab'e Masaka beekulisizza oweebijambiya gwe basse; Baweereddwa akasiimo ka bukadde 10

Added 15th April 2018

Ab’e Masaka beekulisizza oweebijambiya gwe basse; Baweereddwa akasiimo ka bukadde 10

 Ssente ezaabaweereddwa baazigabanye mu lujjudde

Ssente ezaabaweereddwa baazigabanye mu lujjudde

EKITONGOLE ky’amakomera n’abeebyokwerinda abalala bawaddeyo obukadde 10, bwe baasuubiza ng’akasiimo eri anaawaayo amawulire aganaayamba okuzuula Musa Galiwango ne Muhammad Kiddawalime abaatoloka mu kkooti e Masaka.

Abasajja abagambibwa nti be baali batigomya Greater Masaka, baabassaako obukadde 20, ng’ekirabo eky’okuwa abanaaba babazudde nga buli omu yaliko obukadde 10. Abantu ne poliisi abaayambye okuzuula Kiddawalime ssente zino zaabaweereddwa. Akulira ekitongole ky’amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija ye yakwasizza obukadde buno 10 n’abukwasa akulira poliisi y’e Bukulula azigabane n’abantu abaamuyambye okutaayiza Kiddawalime.

Dr. Byabashaija ( ku kkono), Zaake (wakati ) ne Brig. Ssemwanga nga boogera eri abatuuze.

Yamulagidde okuwaako Resty Nakyambadde eyategeezezza abatuuze nga abatemu baakamulumba. Byabashaija yagenze mu kafubo n’abakungu beebyokwerinda e Masaka okwabadde omuduumizi w’enkambi y’amagye e Kasijjagirwa Brig. Joseph Ssemwanga, omuduumizi wa poliisi mu Greater Masaka, Latif Zaake ne batema empenda ku kwongera amaanyi mu kuyigga Musa Galiwango eyeesimatudde ku batuuze n’adduka.

Byabashaija yasabye abantu okwongera okuyiga Galiwango akyekwese kuba obukadde 10, obwaweebwaayo ng’akasiimo we buli. Yategeezezza ng’abaserikale b’amakomera bataano bwe baakwatiddwa olw’okulagajjalira omulimu gwabwe ne kivaako abasibe okutoloka mu kkooti.

Ng’ayogera ku ky’okusiba abasibe empungu nga bali mu kkooti, yagambye nti kino kibadde tekikkirizibwa mu kkooti wabula baamaze okukwatagana n’abakulira kkooti okulaba nga babakkiriza okuleka empingu ku basibe abamu naddala ab’omutawaana olw’okwewala okutoloka nga bano bwe baakoze.

Galiwango ne Kiddawalime baakwatibwa oluvannyuma lw’okuttibwa kw’abantu bataano okwali n’omuserikale wa poliisi SSP Dennis Ssebugwaawo Lumala. Ettemu lino lyasitula Pulezidenti Museveni n’agenda e Bukomansimbi n’ayogera n’abatuuze era oluvannyuma abantu bano ne bakwatibwa.

Bwe baatoloka Pulezidenti yakangula ku ddoboozi n’anenya ekitongole ky’amakomera okubeera ekiragajjavu ne kitawa basibe bukuumi bumala. Muhammad Kiddawalime yattiddwa abatuuze ne poliisi e Mukoko mu ggombolola y’e Bukulula bwe baabadde bazzeemu okwegatta ne Musa Galiwango ne balumba amaka ga Resty Nakyambadde kyokka Galiwango n’adduka nga kati anoonyezebwa.

Zaake ng’alaga ssente z’akasiimo.

Zaake yategeezezza nti kati amaanyi bagatadde ku kuzuula Galiwango gye yaduukidde era obudde bwonna akwatibwa. Abatuuze beebazizza poliisi Abatuuze b’e Mukoko e Bukulula beebazizza poliisi y’omu kitundu olw’okusitukiramu mu bwangu Resty Nakyambadde bwe yakubidde baliraanwa be nabo ne babategeeza nga Kiddawalime ne Galiwango bwe baabadde babalumbye.

Baasinzidde mu lukiiko olwayitiddwa abeebyokwerinda okuva e Masaka okubabangula ku ddembe lyabwe. Abatuuze baategeezezza nti ebiseera ebisinga babadde banenya poliisi nga bagamba nti tebanguwa kutuuka nga bayitiddwa kyokka aba poliisi b’omu kitundu kyabwe bawadde abalala eky’okulabirako nti bwe basitukiramu kiba kyangu okukwata abatemu.

Steven Twinomugisha, akulira poliisi y’e Mukoko yeebazizza abatuuze olw’okukolagana ne poliisi n’abasaba okwongera enkolagana eno mu maaso. Ba ‘Crime Preventers’, nabo yabeebazizza okutuusa amawulire ku poliisi mu bwangu naddala nga waliwo obuzibu. Ab’eddembe ly’obuntu abaakulembeddwa Tom Kitaka, akulira okunoonyereza ku misango baasomesezza abatuuze ku ddembe lyabwe.

Oluvannyuma lw’omusomo abatuuze baakyukidde poliisi n’abajaasi nga babavunaana okulinnyirira eddembe lyabwe ne basaba ababadde beeyisa obubi okukyusaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...