TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okusaba kwa Sheikh Kamoga okweyimirirwa kugudde butaka

Okusaba kwa Sheikh Kamoga okweyimirirwa kugudde butaka

Added 18th April 2018

EYALI akulira Abatabuliiki, Sheikh Muhammad Yunus Kamoga akomyewo mu kkooti.

 Sheikh Muhammad Yunus Kamoga nga bamuggya mu kkooti okumuzzaayo mu kkomera e Luzira.

Sheikh Muhammad Yunus Kamoga nga bamuggya mu kkooti okumuzzaayo mu kkomera e Luzira.

Bya ALICE NAMUTEBI

EYALI akulira Abatabuliiki, Sheikh Muhammad Yunus Kamoga akomyewo mu kkooti.

Ku luno ayagala kkooti  ejulirwamu  emweyimirire ave mu kkomera e Luzira yadde nga yasibwa obulamu bwe bwonna bw'asigazzaayo ku nsi olw’omusango gw’obutujju okumuKka mu vvi.

Kamoga omusango gw’obutujju gwamusingisibwa mu August 2017, oluvannyuma lw’okutambuzaako emyezi munaana ku kiboerezo ky’okusibwa amayisa agamba nti ekirwadde kya alusa tekikyamusobozesa kubeera mu kkomera.

Agamba nti obujjanjabi bw'e Luzira  si bulungi nnyo nga n’endya  y’ekkomera eyongera kusajjusa bulwadde kubanga ebintu abasawo bye bamulagira okulya tabifuna mu budde na mu kigero kyabyo ekituufu.

Kuno agattako nti yadde yasingisibwa ogw’obutujju akyalina essuubi nga kkooti ejulirwamu ejja kugumwejjeereza kubanga yateekayo okujulira ng'awakanya ensala y’abalamuzi nga kuno kw'ogatta n’okubeera n’abantu abasobola okumweyimirira.

Aleeteddwa mu kkooti ejulirwamu ng'awerekebwa kabangali za poliisi erwanyisa obutujju bbiri era obwedda tebakkiriza baaluganda lwe kumala gamusemberera.

Looya we, Roberts Kagolo yategeezezza omulamuzi Christopher Madrama nti mwetegefu okwanjula ensonga za Kamoga lwaki ayagala okweyimirirwa kyokka looya wa gavumenti, Lillian Omara n'abirinnyamu eggere nti si mwetegefu.

Omara  agambye nti tannafuna budde bwetegereza fayiro ya Kamoga kubaako ky'addamu ate ne poliisi ekyanoonyereza ku nsonga za  Kamoga z'ayagala okwesigamako kkooti ekkirize okusaba kwe n'asaba okusaba kwe kuwulirwe ku lunaku olulala.

Omara asabye nti ebikwata ku bantu bonna abagenda okumweyimirirwa bimuweebwe asobole okubanoonye  mu budde kkooti egende okuddamu okutuula nga ensonga zanguwa.

Kamoga aziddwayo mu kkomera okutuusa nga May 2,2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...