
Hon. Lydia Mirembe ng'ayoigera eri abakyala b'e Butambala
ABAKYALA be Butambala basabiddwa okujjumbira okugenda mu malwaliro okulaba abasawo nga bali embuto kibayambe okuzaala obulungi n’okukeendeeza ku muwendo gw'abaana ne bamaama afiira mu ssanya.
Bino by'ogeddwa minisita omubeezi ow’abaana n'abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi ku mukolo ogw’okukuza olunaku lw’abakyala be Butambala ogw'abadde ku kisaawe kye Lugala mu gombolola ye Budde .
Abakyala basookedde mu kuyisa bivvulu okwetooloola egombolola ye Budde nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa Butambala Lydia Mirembe nga wabaddewo n’okwolesa ebintu ebikolebwa ebibiina by'abakyala ebyenjawulo okuli ssabbuuni,okulima obutiko,okutunga n'ebirala.
Minister Nakiwala eyabadde omugenyi omukulu yagambye nti agenda kulaba nga aggulirawo abakyala be Butambala Bbanka y'obweggassi kibayambe okwewola n’okuterek ssente .
Yebazizza omubaka Mirembe olw'okukolera abantu be n'agamba nti Butambala erina ababaka babiri naye bwe kituuka kukolera abantu eringa erina mirembe yekka.
Nakiwala asuubizza okusomesa abavubuka 10 mu buli gombolola enkulaakulana bwe bakomawo nabo bayambe ku abalala.
Ate minisita we byobusuubuzi Galabuzi yasuubizza okuwaayo obukadde 20 buyambe abakyala okukulaakulana n'abasba obutazibba bazikosese bulungi.
Omukolo gubadde ku mulamwa ogw'okutumbula eby'obulamu by'abakyala mu Butambala n'okwekulaakulanya okuva mubwavu nga wano omubaka we kitundu mirembe awaddeyo ebitanda 5 okuzaalirwa nga bino bibalirirwamu obukadde 10 ne ntimbe z'omumalwaliro we bajanjabira mu malwariro