TOP

Nantume ne bba Muganza beeraze amapenziku

Added 19th April 2018

Omuyimbi Maureen Nantume ne bba Ronald Muganza beeraze amapenziku kabaga k’amazaalibwa ne basirisa boogera nti tebali bumu.

 Maureen Nantume ne bba Ronald Muganza ku kabaga

Maureen Nantume ne bba Ronald Muganza ku kabaga

Omuyimbi Maureen Nantume ne bba Ronald Muganza beeraze amapenzi ku kabaga k’amazaalibwa.

Babadde wa Bakuli ku kiraabo ky’emmere ekimu, Nantume  gye yattutte mikwano gye abatonotono ng’ajaguza amazaalibwa ge ku Lwokusatu.

Maureen Nantume ne bba Ronald Muganza nga basala keeki

 

Akabaga keetabiddwako ne bba Muganza era Nantume yasinzidde wano okukakasa n’okusirisa boogera nti tebali bumu. Agamba nti ababyogera kirabika tebalina bya kukola oba si kyo balina bye banoonya kubanga laavu yabwe etinta.

Ng’ogyeko okusala bombi keeki, bano obwedda baliira ku sowaani emu nga bwe beemoola n’okweriisa ekyacamudde mikwano gya Nantume era waliwo abawuuliddwa nga bagamba nti “kale bayuda baddemu okwogera, wama mubakube ebitole bya laavu mu ffeesi bakakase.”

Maureen Nantume n'abamu ku mikwano gye

 

Ku ky’obutalabika nnyo bombi mulujjudde ekivirako abantu okulowooza nti tebali bumu, Nantume agamba nti bba alina emirimu egimutwalira obudde ate si muntu biddongo na masanyu.

Ku ky’emyaka gye yajjaguza ya kyesigaliza nga kyama era obwedda ayogera kimu nti akuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabadinkoni w'e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Balamaze (akutte akazindaalo) ng'atuuza Rev. Ssendege (ku ddyo).

Bannaddiini mubuulire enjir...

SSAABADINKONI w’e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Edward Balamaze akuutidde Bannaddiini babuulire enjiri ekumakuma abantu...

Sserwadda n'ekifaananyi kya Ssengendo.

Omuyizi eyabuze atadde abaz...

Omuvubuka ow’emyaka 17 eyavudde e Mukono okunona densite ye ku ssomero n’abulira mu kkubo atadde bazadde be ku...

Wanyoto (atudde) n'abamu ku balooya be.

Munna NRM Wanyoto akubye ak...

Munna NRM eyawangulwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa Mbale City, Lydia Wanyoto addukidde mu kkooti Enkulu e Mbale...

Edward Mulyanga akulira bassentebe mu Kasangati nga bamukwasa sitampu.

Bassentebe mulemere ku mazi...

Bassentebe b’ebyalo ku mitendera gya LC1 ne LC11 mu Town Council y’e Kasangati mu Wakiso Disitulikiti bakubiriziddwa...

Ssemakula eyakiikiridde SSLOA  ng'avumirira ekikolwa kya KCCA okubawamba.

Abakulembeze ba Owino bavum...

ABAKULEMBEZE b'ebibiina ebikulira abasuubuzi eby’enjawulo mu katale ka St.Balikuddembe bivumiridde ekikolwa ky'okuwamba...