TOP

Ebya Walukagga okuzaala mu yaaya biranze

Added 20th April 2018

Ebya Walukagga okuzaala mu yaaya biranze

 Namugerwa ne Walukagga

Namugerwa ne Walukagga

EBY’OMUYIMBI Mathias Walukagga okwegaana omwana yaaya gw’amulumiriza okumuzaalamu biranze. Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi abiyingiddemu n’agamba nti agenda kuwalaawala Walukagga amutwale mu kkooti ekola ku nsonga z’abaana emukake okuggyibwako omusaayi okuzuula taata w’omwana omutuufu. Nakiwala okusituukiramu kiddiridde Walukagga okwegaana eby’okufunyisa omuwala Aisha Namugerwa olubuto.

Namugerwa abeera ne maama we Sauda Kabasoga e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende alumiriza Walukagga okumufunyisa olubuto bwe yali akola obwayaaya mu maka ge e Maya.

Namugerwa yagambye nti, bwe yali akola ewa Walukagga, mukyala we Mariam yali tabeerawo era yakozesa embeera eno okumukaka omukwano n’amufunyisa olubuto. “Namutegeeza nga nfunye olubuto kyokka waayitawo akaseera katono mukyala we n’akomawo, n’andagira okusibamu ebyange nzire ewaffe nti, sijja kusobola kukwatagana ne mukayala we. Nagenda n’olubuto era bwe nazaala namukubira essimu okumuwa amawulire amalungi ag’okufuna omwana.

Yansindikira 30,000/- nga bw’antegeeza nti nkube omwana ebifaananyi mbimuweereze abirabeko. Kino nakikola wabula ekyanneewuunyisa yanziramu kimu nti omwana ssi wuwe kuba ewaabwe tebazaala baana ba mitwe minene!” Namugerwa bw’annyonnyola. N’agamba nti okuva olwo taddangamu kukwata ssimu ye wadde okumuweereza obuyambi kyokka ng’omwana alwala buli kiseera.

Walukagga ayogedde Bwe yabuuziddwa ku ssimu, Walukaaga yakkirizza nti Namugerwa amumanyi bulungi kuba yamukolerako ewuwe ng’omuyambi w’awaka kyokka ky’atajjukira nti yamuzaalamu omwana era tabimanyi. Yagasseeko nti; “Oyo omuwala kirabika alina ky’anoonya oba si kyo waliwo abaamupanze okunnyonoonera erinnya. Nze simuganzangako wadde okumufunyisa olubuto ate sisobola kwegaana mwana owange kubanga nnina obusobozi obumulabirira.

Abaana bange bonna mbamanyi, abasoma bali mu masomero ga bbeeyi nga ne fiizi mbasasulira ezitakka wansi wa kakadde buli lusoma”. Ku kya minisita okumutwala okumukebera omusaayi, Walukagga yategeezezza nga bw’ali omwetegefu okugenda mu musaayi ensi ekakase ekituufu era n’ajuliza nti ky’amanyi, omu ku bazinyi be mu kibiina, Twaha Mawanda gwe yalabanga ne Namugerwa nga baagalana era ye yamuleeta mu maka ge nga ye yandibadde abuuzibwa ensonga z’omwana.

Mawanda yakkirizza nga Namugerwa bwe yali muganzi we era y’ensonga lwaki yamupangira omulimu ewa Walukagga basobole okubeera bombi kubanga mu kiseera ekyo Mawanda yali asula Maya ewa Walukagga. “Oyo Namugerwa yali mukazi wange era nze nnamufunira omulimu ewa Walukagga nga nkolagana ne muwala wa ssenga we eyamuleeta e Kampala.

Twayagalana okumala ebbanga okutuusa lwe yaddayo e Kasambya. Yayongedde nti nga Namugerwa ali lubuto, yamutegeeza nti ali lubuto n’oluvannyuma n’azaala nti kyokka bwe yabalamu ennaku n’emyezi ng’alaba tebikwatagana bulungi ky’ava yatandika okubuusabuusa omwana. Yagambye nti yassaawo akakwakkulizo bagende mu musaayi kyokka maama w’omuwala n’agaana.

Namugerwa yatandika okumukubira essimu nti omwana akaaba nnyo ng’ayagala agendeyo amulabe kyokka bwe yeebuuza ku bassenga be ne bamugamba agendeyo. Wabula era omwana yagenda mu maaso n’okukaaba olwo n’ayongera okubuusabuusa oba ddala omwana wuwe era n’obuyambi obutonono bwe yali abawa n’abuyimiriza. Minisita Nakiwala yagambye nti; Mawanda ne Walukagga balina okukeberwa omusaayi okuzuula taata w’omwana omutuufu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu