TOP

Walukagga atabuse ne minisita ku by'omwana

Added 21st April 2018

MINISITA Nakiwala Kiyingi yasoose kukubira Walukagga essimu ng’amubuuza akana n’akataano ku mwana agambibwa nti yamuzaala mu hawusigaalo wabula n’amwegaana.

Walukagga

Walukagga

Mathias Walukagga, kati yeekokkola Nakiwala gw’agamba nti, y’apika omuliro mu nsonga zino, omuyimbi ono z’agamba nti ye tazimanyiiko era teziriiko mutwe na magulu.

Ku Lwokuna Nakiwala ng’ayita mu kye yayise okulwanirira eddemba ly’omwana yalaalise okutwala Walukagga ku musaayi bakeberwe DNA era bwe kizuulwa nga Walukagga ye taata w’omwana avunaanibwe emisango omuli obutalabira n’okulagajjalira omwana gw’azaala.

Wadde Walukagga eky’okumukebera omusaayi yakikkirizza ng’agamba kigenda kumuyamba okukakasa ensi nti ebimwogerwako bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo, wabula yeewuunyizza obwangu n’amaanyi minisita by’atadde mu nsonga zino ate ng’ensonga eziruma eggwanga nnyingi Minisita z’atafaako omuli n’abasaddaaka abaana.

Walukagga agamba nti, ensonga zino zirimu abantu abagenderera okumwonoonera erinnya nga bayita mu kumulaga ng’omusajja omulagajjavu, atalina buvunaanyizibwa.

Nga muwotofu olw’ebigenda mu maaso, Walukagga yagambye nti: Oyo yenna ali emabage w’ekintu kino muweerezza Zaburi 109 egamba nti; “Mundaze obukyayi bwe munninako, nange lumu ndibalaga obusungu bwe mbalinako..”

Kuno yagasseeko okubuuza nti, “Naye lwaki Twaha Mawanda eyakkirizza okuganza omuwala oyo n’okumufunyisa olubuto ye tebamuteekako maanyi bagatadde ku Walukagga!”

Bino okubaawo kidiridde omuwala Aisha Namugerwa mu kiseera kino abeera ne nnyina Sauda Kabasoga e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende okuvaayo n’alumiriza Walukagga okumufunyisa olubuto mu kiseera we yali akolera mu maka g’omuyimbi wa Kadongokamu ono agasangibwa e Maya ku lw’e Masaka.

Namugerwa agamba mu kiseera we yakolera ewa Walukagga, mukyala we Mariam yali avuddewo era yakozesa embeera eno okumukaka omukwano n’amufunyisa olubuto.

“Walukagga namutegezza nga nfunye olubuto kyokka waayita akaseera katono mukyala we n’akomawo era wano we yasinzira n’andagira okusibamu ebyange hhende ewa maama nga agamba nti sijja kusobola kukwatagana ne mukayal we era ng’ansuubizza okumpeereza obuyambi, wabula teyakikola.” Namugerwa bw’attottola.

Omuwala yagasseeko nti, “Nagenda n’olubuto era bwe nazaala namukubira essimu okumutegeeza. Yasindika ssente 30,000/- n’asaba mmuweereze ku bifaananyi by’omwana nange kye nakola kyokka okuddamu okwogera nange yaddamu kimu nti, ye tazaala baana ba mitwe minene. Okuva olwo taddangamu kukwata ssimu yadde okuweereza obuyambi kyokka omwana alwala buli kiseera.”

Minisita Nakiwala Kiyingi oluvannyuma lw’okulaba eggulire lino yategeezezza nti tayinza kuleka Namugerwa n’omwana we kubonaabona nga Walukagga ayogerwako waali wano ate nga yeesobola; kwe kulagira be kikwatako mu minisitule ye okuli ne bannamateeka okutandika okukola ku nsonga za Walukagga.

Nakiwala yategeezezza nga bw’agenda okugenda e Mubende okulaba embeera Namugerwa gy’ayitamu ne bebbi we bwe kiba kyetaagisa okuggyayo bebbi okufuna amaka agalabirira abaana we baba bamuteeka ng’eby’omusaayi bwe bikolebwako, nakyo kikolebwe kubanga maama we mu kiseera kino talina buyambi.

WALUKAGGA BAMUBUUZIZZA EBYA HAWUSIGAALO MU KIVVULU

Walukagga eyeekazaako “Ever Smart” bwe yabadde ayimba mu kivvulu ky’e Kapeeka, Nakaseke mu kiro ekyakeesezza eggulo, abamu ku bawagizi be baamusabye abannyonnyole ku nsonga za hawusigaalo kyokka bano teyabafuddeko era yavudde ku siteegi ng’ensonga eno tagyogeddeeko.

Walukagga eggulo yazzeemu okukikkaatiriza nga bw’atabeerangako na Namugerwa mu nsonga za mukwano era agamba kirabika waliwo akiri emabega n’ekigendererwa ky’okwonoona erinnya lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...