TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC etiisizza okukola eggye lyayo okwang'anga NRM

FDC etiisizza okukola eggye lyayo okwang'anga NRM

Added 23rd April 2018

FDC etiisizza okussaawo ekibinja ky’abavubuka okwang’anga aba NRM singa akakiiko k’ebyokulonda kanaalemwa okuwa ekibiina kino obukuumi obumala mu biseera by’okuddamu okulonda okugenda maaso mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

 Omwogezi wa FDC  Ssemujju Nganda (ddyo) n’akulira abavubuka mu FDC Idi Ouma nga bali mu lukung’ana lwa bannamawulire.

Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda (ddyo) n’akulira abavubuka mu FDC Idi Ouma nga bali mu lukung’ana lwa bannamawulire.

Omwogezi w’ekibiina Semuju Nganda yategeezezza bannamawulire  ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi nti abakulira FDC bagenda kusisinkana abakulira akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga bababuulire obuzibu bwe bayitamu  nga bali mu kuyigga obululu  n’okulonda mu bitundu ebitali bimu .

N’agamba nti akakiiko bwe kanaalemwa okubayamba balina abavubuka abamala be bagenda okweyambisa okukola eggye libakuume n’okwang’anga ababalumbagana.

Yalumirizza nti oludda lwa NRM lweyambisa amagye ne poliisi okutigomya abagoberezi b’ekibiina kyokka ng’akakiiko k’ebyokulonda tekafuddeeyo.

Yayongeddeko nti  Pulezidenti Museveni naye agenda agaba ebirabo omuli ne bodaboda mu bitundu olumu awaba wagenda okuba okuddamu okulonda nga bino byonna biyamba aba NRM okuyitamu.

Kwe kutegeeza nti okulonda kwe beetegese okukolawo akatiisa kw’e Rukungiri n’e Pallisa singa akakiiko k’ebyokulonda kanaalemwa okubawa obukuumi.  

Yagambye nti mu kulonda kw’e Rukungiri omuntu waabwe Betty Muzanira eyawangudde Winnie Matsiko  owa NRM olw’okaano alulimu era bwe wanaabaawo ebitagenda bulungi ng’ekibiina kiyingirawo.

Kino agamba nti kye kyali n’e Jinja East , Paul Mwiru owa FDC gye yawangulira ku bunkenke ng’abawagizi baayo bakubwa.

Mu ngeri y’emu Semuju yagambye nti awagira eky’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza okugamba ku Pulezidenti Museveni awummule.

Era yakunze n’abawakanya okukyusa Konsityusoni okuggyamu emyaka okusigala nga bagenda maaso n’okwesiba obuwero okuguguba okutuusa nga kkooti ya Konsityusoni etuula e Mbale emaze okusalawo eggoye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...