
Rema Namakula ng'ayimba mu mukolo gw'okwanjula kwa Catherine Kusasira
Yagambye nti agenda kubakubira ennyimba ze empya n’enkadde nga ‘‘Juice wa Mango, Tikkula, Bannyabo’’ n’endala.
Maneja we, Godfrey Kayemba yagambye nti olutuuka basookera mu kulya mmere kubanga enkya mazaalibwa ga Rema nga ku luno ayagadde kujaguliza wamu n’abawagizi be ab’e London.
Agenda kuyimbira mu kivvulu ekituumiddwa ‘‘Bannyabo Wooloolo Concert’’ ekigenda okubeera ku Royal Regency Manor Park.
Eno agenda kuttunka n’omugole Kusasira, David Lutalo ne Geo Steady era abadigize beesunga kulaba ani y’ani mu kukuba omuziki gwa laavu.