TOP

Aba Boda boda ekira bakoze SACCO

Added 2nd May 2018

Aba Boda boda ekira bakoze SACCO

Tonnya Kayemba

ABAVUZI ba Boda Boda ababadde beegattira mu kiyiwayi kya 2010 mu Kira Munisipality abagamba nti bakooye entalo ezibadde zifumbekedde mu mulimu gwabwe bavuddeyo ne batandikawo ekibiina ky’obwegassi (SACCO) mwe bagenda okuyita okw'ekulaakulanya mu kifo kyokudda mu by'obufuzi.

Ekibiina kino kye batuumye Kira Munisipality Co-perative Society nga kitwala Division esatu ezikola Munisipality y’e Kira Okuli Bweyogerere, Namugongo ne Kira nga bano balonze obukulembeze bwa buli Division wamu n’obwokumutendera gwa Munisipality.

Meddie Mwavu akulira ekibiina kino ku Munispality e Kira nga yeyakuliddemu okulondesa obukulembeze ku mutendera gwa wansi mu lukiiko olutudde ku  Offiisi ya Boda Boda mu Division y’e Namugongo yasabye bavuzi banne okwenyigira mu kibiina kino ekyenkulaakulana bave mu byobufuzi bye babaddemu ebibadde bibazza emabega n'ategeeza nga ekibiina kino wekitaliimu byabufuzi nga buli muvuzi waddembe okukiyingira ne bwaba nga abadde tatambula nabo.

Ono yasabye abo bona abayingidde mu kibiina kino okugula emigabo ejitundibwa emitwalo ebiri wamu n'okweterekera ssente nga zino basobola okuziggyayo obudde bwona bwe baagala nga nabo abafunye obuzibiu ekibiina kyakubawola wamu nokukola emirimu ejikulaakulanya abavuzi ba Boda Boda mu Kira.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...