TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Nalwana mu Ssematalo II naye n'ettaka eryampeebwa sirifunanga'

'Nalwana mu Ssematalo II naye n'ettaka eryampeebwa sirifunanga'

Added 3rd May 2018

‘Nalwana mu Ssematalo II naye n’ettaka eryampeebwa sirifunanga’

ABAAZIRWANAKO mu Ssematalo owookubiri bongedde okuttottolera akakiiko k’ettaka ennaku gye bayitamu nti era n’ettaka eryabaweebwa ng’akasiimo lyababbibwako abagagga.

Muzeeyi Ezirimansi Katende 92, katono akaabye omulamuzi Catherine Bamugemereire amaziga bwe yamugambye nti anoonya n’ekyokulya ne kibula kyokka nga yalwana mu Ssematalo owookubiri ne bamuwa ettaka nga bamwebaza naye engeri gye lyabulankanyizibwamu tasobola kuginnyonnyola. “ Nze mu Ssematalo owookubiri nnali muweesi wa byuma ebyakozesebwanga mu lutalo.

Nayingira obujaasi nga nkyali muvubuka era nasooka kutwalibwa Jinja gye bantendekera mu by’emmundu. Nagenda e Magamaga ne nkuguka mu kukuba ssabbaawa n’e Nairobi nga tutendekebwa ebya paleedi n’ebyekuusa ku mmundu.

Okutendekebwa nakumalamu emyezi esatu ekibinja kyange ne baki-weereza e Somalia gye twalwanira mu Ssematalo owookubiri. Namala emyaka esatu n’ennaku 84 ng’emmundu zintokotera ku mutwe era bwe twakomawo mu Uganda kwe kutegeezebwa nti Nnaabakyala wa Bungereza yali atuwadde ettaka okutwebaza olw’omulimu omulungi gwe twakola,” bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...