TOP

Metulooni aganzizza akalenzi ka p 6

Added 3rd May 2018

Metulooni aganzizza akalenzi ka p 6

 Essomero lya Elton Brilliant school metulooni Tushemegeirwe (ku kkono) gye yakwatidde omwana.

Essomero lya Elton Brilliant school metulooni Tushemegeirwe (ku kkono) gye yakwatidde omwana.

POLIISI ekutte metolooni w’essomero lya Elton Brilliant School mu Lufuka e Namasuba olw’ebigambibwa nti yaganza omwana omulenzi ow’emyaka 14 asoma mu P6 n’amusiiga obulwadde bw’ekikaba.

Mackline Tushemegeirwe 25, ng’akuuma baana ku ssomero lya eyali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti, Elton Joseph Mabiriizi ye yakwatiddwa. Tushemegeirwe akuumibwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’omwana (amannya gasirikiddwa) okumulumiriza nti aludde ng’amukaka omukwano nga kati awulira teyeewulira bulungi mu bulamu bwe.

Abayizi ku ssomero lya Elton Brilliant School be baatemezza ku bakulira essomero lino nti buli kiro metulooni waabwe ayita munnaabwe mu kasenge ke ne balwayo.

Tushemegeirwe yakkirizza okukabassanya omwana ono era n’asaba ekisonyiwo nga bwalayira obutaddamu kukikola. Mabiriizi nnannyinni ssomero yatutte Tushemegeirwe ku poliisi e Katwe omwana nayongera okumulumiriza era bombi ne bakola sitatimenti.

Omwana yaggyiddwa ku ssomero n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okujjanjabwa. Tushemegeirwe yagguddwako ogw’okukabassanya atanneetuuka ku fayiro CRB636/2018.

Gye buvuddeko poliisi y’e Katwe yakwata omuvuzi w’emmotoka y’essomero lya Mild Care e Munyonyo gwe bayita Haruna lwa kusobya ku mwana atannetuuka bwe yamusuubiza okumugulira swiiti aleme kwogera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....