TOP

Bakutte emmotoka endala 3 ku bya Magara

Added 4th May 2018

Bakutte emmotoka endala 3 ku bya Magara

 Omugenzi Susan Magara

Omugenzi Susan Magara

OLUVANNYUMA lw’okukunya abamu ku basajja be baakwatidde mu muzikiti mu Kisenyi, abebyokwerinda balondodde emmotoka bbiri ezigambibwa nti zaakozesebwa mu kuwamba n’okutta Susan Magara era zombi ne bazikwata.

Zino bazigasse ku mmotoka ey’ekika kya Prado gye baasooka okukwata era kati emmotoka ziri ssatu. Magara yawambibwa nga February 7, 2018 n’amala mu buwambe wiiki ssatu era omulambo gwe gwazuulibwa nga February 27, e Kitiko – Mutungo mu Wakiso. Abaamuwamba baasooka kumutemako ngalo ne bazisindikira bazadde be mu bbaasa era ne babagattirako n’amaloboozi nga muwala waabwe alaajana wakati mu kumutulugunya.

Okuzuula mmotoka zino, poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe ebirala okuli CMI, ISO ne JATT, basoose kumala kiseera nga babuuza abasibe akana n’akataano ku by’okutemula Magara era oluvannyuma ne boogera ku by’emmotoka ebbiri okuli Premio ne Cardina.

BABOOGEZZA EMMOTOKA GYE BAAZITEEKA

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, bwe baakutte abasajja bano abagambibwa nti balina akakwate ku kabinja k’abatujju aka Khawarij, omu ku bbo yakkirizza okwenyigira mu kuwamba Magara n’okumutta era n’agattako nti waliwo omugagga eyabapangisa okukikola.

Ono ye yategeezezza poliisi nti, baamuwambira mu mmotoka kika kya Cardina gye baakozesa nga bamaze okumusika mu mmotoka ye ne bavuga nga badda ku lw’e Nakawuka awaali mmotoka endala gye baali bategese. Cardina baagisuula mu bitundu by’e Nalukolongo mu garagi emu, olwo Magara ne bamuteeka mu mmotoka endala era Cardina ne bagiggyako emipiira okubuza obujulizi.

 

Ababadde bagiraba ng’eri ku bigingi nga tebayinza kuteebereza nti eriko misoni gye yakola mu February. Baalagiridde poliisi garagi mmotoka eno mwe yabadde e Nalukolongo era omuduumizi wa Flying Squad, Herbert Muhangi ne basajja be ne basalako garagi ku Lwokusatu.

Baakutte bamakanika abasoba mu bataano ate emmotoka ne bagisika ne bagitwala ku poliisi y’e Nateete ne bateekawo n’omuntu agikuuma. Ate mmotoka endala egambibwa okweyambisibwa mu kuwamba kuno, kika kya Toyota Premio UAY 683G eri mu mannya ga Isma Bukenya.

Poliisi yagikwatira ku muzikiti gwa USAFI ku Lwokutaano ekiro lwe baagulumba kyokka okuva lwe yagikwata, tewali muntu yenna yali agenzeeyo kugirondoola. Baagitwala ku poliisi ya Old Kampala we baagisimba nga balowooza nti, waliwo nannyiniyo anaagirondoola bagimuwe wabula kati ennaku munaana eziyiseewo tewali avaayo. Abasibe baabakunyizza ku mmotoka era omu n’agamba nti nayo baagikozesaako mu ‘misoni’.

Ekyewuunyisa ku mmotoka eno, abantu abasinga omusolo bwe bagusasula, bagutimba ku ndabirwamu ya mu maaso oba ku nzigi; wabula ku mmotoka eno, sitiika y’omusolo baagiteeka mabega ddala ku ndabirwamu.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, kino nnannyiniyo alabika yakikola olw’obutayagala baserikale ababeera babuuza omusolo okulwawo ng’amwetegereza mu maaso; bw’amuyimiriza amusindika mabega.

Mmotoka eno, tebannagiggula kugyekebejja bigirimu era poliisi esuubira nti, eyinza okubeera ey’omugaso ennyo mu kunoonyereza. Poliisi yasooka kukwata mmotoka kika kya Pajero nnamba UAJ 200V egambibwa nti, nayo abatemu baagyeyambisa mu kuwamba n’okutta Magara.

Mmotoka eno, nakati ekyasimbye ku CPS mu Kampala we yaterekebwa ng’ekimu ku bizibiti mu musango gw’okuwamba n’okutta Susan Magara.

MMOTOKA ZA FAISAL BAZIKUTTE

Ku Lwokusatu akawungeezi, poliisi yazzeemu okuzingako USAFI era ku mulundi guno, tebaakomye ku muzikiti wabula baatuuse ne ku ppaaka ya USAFI ne bakwata takisi bbiri. Mmotoka zino, kigambibwa nti za Abdul Rahman Faisal abadde akulira omuzikiti era zikola ku siteegi y’e Kajjansi n’e Ntebe wadde ng’emu baagiwandiikako Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...