TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebibuuzo 20 ebyebuuzibwa ku baakwatiddwa mu muzikiti

Ebibuuzo 20 ebyebuuzibwa ku baakwatiddwa mu muzikiti

Added 4th May 2018

Ebibuuzo 20 ebyebuuzibwa ku baakwatiddwa mu muzikiti

 Abaserikale nga bakuuma ekifo awabadde omuzikiti gw’Abasiraamu b’omu Kisenyi.

Abaserikale nga bakuuma ekifo awabadde omuzikiti gw’Abasiraamu b’omu Kisenyi.

EBIBUUZO bingi abantu bye baagala poliisi eyanukule ku by’omuzikiti oguliraanye akatale ka Usafi ogwazindiddwa amagye ne poliisi abantu babiri ne battibwa n’abalala abasoba mu 30 ne bakwatibwa n’ebissi eby’enjawulo. Poliisi yanunudde abakazi 18 n’abaana 94, okusinziira ku poliisi nga mu kiseera kino abaana abasoba mu 40 banoonyezebwa nga kigambibwa nti baabulira mu mukiziti guno.

EBIBUUZO EBYEBUUZIBWA

1. Buli muntu yeebuuza abantu abaakwatiddwa baabadde bayeekera oba batujju ng’ebitongole byokwerinda bwe bigamba. Lwaki poliisi kigitwalidde emyaka musanvu okutegeera obulabe bw’omuzikiti guno ogutunudde mu poliisi ya Luzige eri ebusukka kkubo?

2. Sheikh Ibrahim Kimera agambibwa okutandika omuzikiti ogwasanyiziddwawo lwaki yamaze kufa ate ebitongole byokwerinda ne birumba omuzikiti gwe ku lunaku lwennyini. Wandiba nga waliwo abantu abaagala okwezza ettaka lino nga bwe kirudde nga kiwulirwa nti waliwo abagagga abalyegwanyiza era abaludde nga batawaanya Kimera.

3. Kimera bwe yafudde, kigambibwa nti omulambo gwe okuva mu ddwaaliro e Kiruddu gwawerekeddwako kabangali z’abajaasi bbiri okumutuusa mu limbo y’Abasiraamu e Nkoowe gye yaziikiddwa. Atabadde mujaasi kiki ekyamuweesezza obukuumi obwo bwonna?

4. Bwe kiba nga ddala omuzikiti guno gubadde guwandiika abatujju, lwaki babadde baasalawo okukikolera mu kibuga wakati. Obuvumu babadde babuggyawa oba babaddeko abanene abababikkirira?

5. Waliwo abazadde abalumiriza nti omuzikiti guno gwabuliramu abaana baabwe, naye kisoboka okuba ng’abaana baababulako ne banoonya ne babivaako oba balina kye bamanyi?

6. Abantu abasinga Bukedde be yayogeddeko nabo abalumiriza nti baabulwako abaana baabwe, tewali alina nnamba kwe yaloopa musango. Beewolereza nti obupapula kwe baawandiika ennamba z’omusango baabulese mu nnyumba mwe babadde basula okumpi n’omuzikiti. Naye ddala kisoboka?

7. Lwaki n’okutuusa kati poliisi ekyalemeddwa okuvaayo n’eyogera amannya g’abantu ababiri abaafiiridde mu bulumbaganyi ku muzikiti. Obutafaanagana nga bulijjo bwe babatwala mu ddwaaliro e Mulago, baagambye nti emirambo gikyali mu mikono gyabwe? Kisoboka okuba ng’omuwendo gusinga ku gumanyiddwa? 8.Abatuuze balumiriza nti bazze baloopera poliisi ebikolobero ku muzikiti guno ng’emirundi mingi baatuukirirako n’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga.

Lwaki poliisi teyafaayo?. 9. Omuzikiti gwa Usafi si gwe gusoose okulumbibwa poliisi n’etegeeza nga bw’ekwatiddeyo ebissi, kyokka gye biggweera ng’omusango gukomye mu bbanga. Omuzikiti gw’e Kiwatule ne Nakasero gyalumbibwako era poliisi n’etegeeza nti yali esanzeeyo ebissi naye gye byakoma teri amanyiiyo?

10. Lwaki poliisi eyanguyiriza okusiba buli muntu gwe baba bakutte ku batujju oba abayeekera ba ADF, abaali bakulemberwa Jamil Mukulu? 11. Kiki ekigaanye abakulembeze b’Obusiraamu e Kibuli ne Old Kampala okubeerako kye boogera ku mbeera y’okulumba omuzikiti. Lwaki tebakivumirira oba okulaga okunyolwa olwa Basiraamu okulumbibwa entakera?.

12. Musa Muleme, ssentebe wa Luzige Zooni awaamenyeddwa omuzikiti agamba nti buli ab’ebyokwerinda lwe bajja bamala kwaza oluvannyuma ne bamuyita ateeke omukono ku bintu bye bazudde. Lwaki baaza ng’abakulembeze tebaliiwo? 13. Ddala Gavumenti efuddeyo ku bantu abangi ababeera mu bitundu nga Kisenyi nga boogera ennimi ezitamanyiddwa mu ggwanga. Watya ng’abantu bano beekobaanye ne bakola ekintu nga bawuliziganya bokka na bokka?

14. Emyaka omusaanvu omuzikiti guno gye gumaze n’ebikolobero ebigubaddemu nga bwe biwulirwa bikuleetera okulowooza nti mu ggwanga temukyali bambega. Buli kitundu kirimu ba DISO, GISO n’abalala, ddala bakola mulimu ki?

15. Emmundu; Okuleka okuzoogerako nti abatujju baazirina, poliisi tennavaayo mu bulambulukufu kulaga zaali mmeka, za kika ki, zaalimu amasasi ameka, zabbibwa mu bitongole ki oba baazifuna mu makubo ki?

16. Bo abajaasi aboogerwako nti be baalina emmundu zino be b’ani, nabo baali kitundu ku batujju aboogerwako oba baali ba mbega nga okuyingira nazo kaali katego bakwatireko abaali mu muzikiti n’okukkirizisa abalabi nti ddala baali batujju?

17. Abantu abamu batankana ekyatta Kimera kuba okulwala kwe batono abaakutegeerako era abamu balowooza nti okufa kwe kwandiba n’akakwate ku byaddiridde?

18. Ani abadde ateeka ssente mu kabinja kano ?

Poliisi egamba nti abaabadde baddukanya ekifo kyebafuuzizza, babadde tebakoma ku kya kubuulira njiri ya Busiraamu, wabula b

abadde bajjanjabirawo n’abantu. Ani abadde avujjirira abantu bano ssente ?

19. Ng’aggyeeko omuzikiti gwalumbiddwa, bifo ki ebirala, ebibadde n’akakwate ku bibadde bikolebwa mu kifo kino? Bisangibwa wa, b’ani ababiddukanya, era bafuniramu wa? Abagambibwa okuba abatujju kisoboka okuba nga babadde bakola bokka?

20. Lwaki poliisi abaserikale beeyogerako nti baalumiziddwa mu kulwanagana teboogera?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...