TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakugu balongoosezza omujaasi ne bamuzzaako 'obusajja' okuva ku mulambo: Kati asaza kimu!

Abakugu balongoosezza omujaasi ne bamuzzaako 'obusajja' okuva ku mulambo: Kati asaza kimu!

Added 6th May 2018

GANO mawulire ga ssanyu eri abasajja abaafa ‘’obusajja’’ oba omulala yenna ng'obubwo busulirira kukecurwako!

Abakugu mu ddwaaliro lye Johns Hipkins mu Amerika basaze ku mulambo obusajja ne babussa ku muserikale wa Amerika abadde talina bubwe oluvannyuma lw’okufuna obuzibu buno  ng’alwanira   mu Afganstan era w'osomera bino yazzeemu  dda okukola kinawadda.

Okulongoosa omusajja ono  kwatutte essaawa 14 era kwagenze bulungi.

Ebitundu ebyasaliddwa ku mulambo ne bissibwa ku mujaasi ono kuliko obusajja  n’ekisawo kyakwo era abakugu baagambye nti kigenda kumuyamba okuddamu okufuuyisa obulungi n’okukola emirimu gy’amaka.

Kigambibwa nti omusajja eyasaliddwaako obusujja buno yakkiriza okubuwa abwetaaga nga tannafa.

Guno gwe mulundi ogusoose mu nsi okusimbuliza obusajja bwonna nga kuliko n’ekisawo kyabwo.

Wabula gwe baawadde obusajja eyagaanyi okumwatula amannya yagambye nti musanyufu era kati awulira 'musajja mujjuvu' wadde nga obusajja bwe baamuwadde n’ebisawo temwabaddemu nsigo.

Okulongoosa omusajja ne bamuwa ‘’obusajja’’ obulala kwasooka kukolebwa China mu 2006 kyokka gwe baabuwa yeekyawa n’agamba babumuggyeko nga ye ne mukazi  tekibayisa bulungi, omu ku basawo bwe yategeezezza.

Okukyusa obusajja ne busigala ku gwe babuwadde kyasooka kubeerawo mu South Africa mu 2015 . Era Amerika n’eddako mu 2016 kyokka okukyusa obusajja okutwaliddemu n’ebisawo okwongerwako okwakoleddwa mu ddwaliro lino kwe kusoose mu nsi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...