TOP

Engeri gye batadde looya ku by'okutta Magara

Added 6th May 2018

MUNNAMATEEKA w’omu Kampala, Muzamil Bikanga n’okutuusa olunaku lw’eggulo yabadde akyakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi ng’okumunoonyerezaako ku by’okutta Magara bwe kugenda mu maaso.

 Looya Muzamil Bikanga eyakwatiddwa ku by'okutta Magara

Looya Muzamil Bikanga eyakwatiddwa ku by'okutta Magara

Kigambibwa nti munnamateeka ono yasooka okwogera ne kitaawe wa Magala, ng’amuyingiza mu ddiiru y’ettaka ly’Obukama bwa Bunyoro ku buwumbi busatu kyokka ddiiru n’eyiika.

Ensonda zaayongeddeko nti omwaka oguwedde, munnamateeka ono yasaba asisinkane kitaawe w’omugenzi Magara era baasisinkana e Hoima n’amuyitiramu ku by’okumuguza ettaka kyokka kittaawe wa Magara n’abigaana.

Kigambibwa nti munnamateeka ono okusisinkana kitaawe wa Magara, yagenda ne mugandawe ayitibwa Yakoob Byensi.

Aba famire ya Magara balumiriza nti, eddoboozi eryali ku katambi ery’omuntu eyabasabanga ssente mu by’okuwambibwa kwa Magara lyali lya musajja ono Yakoob Byansi.

Kigambibwa nti ekiseera kyonna Magara kye yamala mu buwambe nga tannattibwa, omuntu eyayogeranga ng’ateesa ku bya ssente yali Byansi kyokka kyataamanya nti buli lwe yayogeranga, ng’eddoboozi lye aba famire ya Magara balikwata ku lutambi era baalikwasa poliisi.

Famire ya Magara erina bizinensi nnyingi z’ekola omuli waragi w’omu buveera, faamu, nga kati ezimba ekyuma ekikola sukaali e Hoima.

Mu kiseera munnamateeka we yagezaako okuguza Bamagara ettaka baali bali mu kugula ettaka mu bitundu eby’enjawulo okusimbako ebikajjo by’ekkolero lyabwe erya sukaali.

Waayitawo ekiseera kitono omuwala Susan Magara ne bamuwamba nga basaba doola za Amerika akakadde kamu.

Abebyokwerinda banoonyereza okuzuula nti, osanga bano abaali batunda ettaka bwe baalemwa okufuna ssente mu ttaka kwe kusalawo okuzifuna nga bayita mu kuwamba omuwala.

Munnamateeka ono Bikanga yaliko omyuka wa Ssaabawalorereza mu Gavumumenti ya Omukama kyokka n’agobwa oluvannyuma lwa bantu okwemulugunya nti abakungu ba Omukama baali beenyigidde nnyo mu kutunda ebyobugagga bwa Bunyoro omuli n’ettaka.

Bikanga ono kigambibwa nti yali nnyo mu kuwa liizi ya myaka 20 ku ttaka ly’Obukama eriweza mayiro 20 eri kkapuni ya sukaali erimeko ebikajjo kyokka nga kino yakikola mu ngeri ya mankwetu.

ENGERI EDDOBOOZI LYA BENSI GYE LYATEGEERWAMU

Kigambibwa nti eddoboozi ly’omusajja ono Byensi lyasooka kutegeerwa abamu ku bafamire ye era ng’ono mutabani wa Hajji Ausi Rwakaikara eyaliko minisita wa Obote ate Bikanga, mutabani wa Asuman Karubanga muganda wa Rwakaikara.

Aba famira ya Rwakaikara ne Karubanga baagwawo ekigwo bwe baawuliriza akatambi ne bakizuula nti, eddoboozi eryali lisaba ssente aba famire ya Magara lyali lya Byensi abamu ne basalawo okubuulira poiliisi abalala ne bakigaana.

Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni ye muntu eyasooka okubuuza kitaawe wa Magara oba yali amanyi famire ya Rwakaikara era n’amuddamu nti yali awulidde ku linnya eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...