TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebimu ku by'azuuliddwa ku kufa kw'eyali omubazi w'ebitabo Katende

Ebimu ku by'azuuliddwa ku kufa kw'eyali omubazi w'ebitabo Katende

Added 8th May 2018

Ebimu ku by'azuuliddwa ku kufa kw'eyali omubazi w'ebitabo Katende

 Abakungubazi ng’amaziga gabayitamu.

Abakungubazi ng’amaziga gabayitamu.

OKUFA kwa Abel Katende eyatemuddwa mukazi we n’abaana kwaddiridde (omukazi n’abaana abakulu) okugenda ew’omusamize n’abalagula nti Katende y’abasiraanya era okutereera balina okumutta.

Entikko y’okusalawo okutemula Katende yavudde ku muwala we Charity Nabukalu eyafuna omusajja Omuzungu era ye ne nnyina ne balowooza nti ebyabwe biteredde, kyokka Omuzungu n’amusuulawo. Kino omusamize kye yeesibyeko nti Nabukalu ne banne okudiba kiva ku ddogo ery’amaanyi erikolebwa kitaabwe Katende.

N’abawa amagezi bamutte okufuna obuweerero. Katende, omubazi w’ebitabo era eyakolanga mu kitongole ky’ebirango mu lupapula lwa The Monitor yaziikiddwa eggulo e Busaawa- Mmanze, Masuliita mu Wakiso.

Omulambo gwe gwazuuliddwa ku Ssande mu kaabuyonjo mu maka ge amalala e Luteete ku lw’e Gayaza. Okuzuula omulambo kyaddiridde poliisi okukwata mukazi we ow’empeta Janet Namugenyi Katende n’abaana babiri Gideon Kaaya 19, ne Lillian Najjuma 25.

Kaaya baamwogezza n’akkiriza bwe batta Katende era n’abatwala awali omulambo. Baamutta Lwakutaano nga April 27. Muwala we Nabukalu yamukuba ekiti ku mutwe n’agwa wansi we yafiira e Mmanze.

Omulambo baagussa mu mmotoka ne bagutwala e Luteete. Katende bwe yafuna obutakkaanya ne mukazi we n’abaana n’abaleka e Luteete n’adda e Mmanze mu 2015. Alina abaana 11, bonna yabaleka Luteete n’alekera awo okubaweerera n’okubawa obuyambi-kino kyandiba nga kyavaako abaana okumukyawa naddala bwe baabagoba mu masomero ne batuula awaka.

Omukazi n’abaana baatandika okweraguza ne babategeeza nti Katende y’abasiraanya.Mulekwa Emma Nalweyiso asoma S4 ku Kitante Hill yategeezezza Bukedde nti abadde yakoma okulaba ku kitaawe emyaka ebiri emabega. Yagambye nti abaana bonna baali baakyawa kitaabwe lwa butabaweerera.

Yagambye nti bato be ababiri ku ntandikwa y’omwaka guno kitaabwe yabatumya ne bagendayo okumulaba e Mmanze nga baali basuubira okubawa fiizi kyokka n’agaana. Ate omupakasi w’awaka, Ismail Akayinjuka yagambye nti mukama we lwe yafa, Nabukalu yajja ne nnyina ne bayingira mu nju.

Nabukalu yafuluma n’agenda mu ffumbiro omwali ettooke n’awaata n’afumba, kyokka Katende n’agaana okulya. Baamuwa caayi naye n’agaana okumunywa- oluvannyuma emmere ne caayi baabiyiwa ekyakakasa Katende nti baali bamulungidde obutwa. Baagenda mu lusuku ne batema amatooke ne bakomawo awaka, Katende n’agamba omupakasi agende ku muzikiti asaale.

Awo omupakasi we yakoma okulaba mukama we. Kyokka ku ssaawa nga 7 ez’emisana omwana abadde abeera ne Katende ayitibwa Elifazi Kazibwe asoma mu P3 yakomawo.

Yali ku geeti n’awulira nga Nabukalu ayita Kaaya ayingire mu nju, ekyaddirira kuwulira Katende ng’alaajana nti “woowe munzise.” Omwana yadduka ku muliraano ewa Joseph Maalo n’annyonnyola ebiguddewo.

Maalo yeeyongerayo ewa Ssentebe wa LC1, Ssaalongo Sekyawa Ssentongo eyasitukiramu kyokka emmotoka yagisanga mu kkubo ng’egenda. Andrew Nkuubi, mutabani wa Katende abadde akolagana ne kitaawe yagambye nti Katende abadde agenda kumuwa ssente kugenda kukolera mu Amerika era nga yafunye viza ya myaka etaano.

Maama wa Katende ayitibwa Nasitanzia Nanteza yagambye nti yasembyeyo okumulaba wiiki bbiri eziyise bwe yamutwalira enkota z’amatooke bbiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...