TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka agguddewo ofi isi erwanyisa 'Sickle Cell'

Kabaka agguddewo ofi isi erwanyisa 'Sickle Cell'

Added 9th May 2018

Kabaka agguddewo ofi isi erwanyisa ‘Sickle Cell’

 Hajji Kibirige ng’asiibula Kabaka. Ku ddyo ye Katikkiro Mayiga ne Nnaabagereka (owookubiri ku kkono) ne Hajati Kibirige.

Hajji Kibirige ng’asiibula Kabaka. Ku ddyo ye Katikkiro Mayiga ne Nnaabagereka (owookubiri ku kkono) ne Hajati Kibirige.

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye bannamawulire okwanikanga abasajja abakabassanya abaana okuli ab’amasomero n’okuggyangayo ebikolobero ebikolebwa ku bakyala buli kadde.

Bino Omutanda yabyogedde aggalawo Ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda 2018 eyabadde ku Hotel Africana eggulo eyabumbujjidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okussa ekitiibwa mu Bakyala gwe musingi gw’enkulaakulana”. “Tuvumirira ebikolwa by’okutulugunya abakyala era bonna abakikoze tusaba ab’obuyinza babakoleko era abakwatiddwa bavunaanibwe mu bbanga eggere emisango gireme kukandaalirira,” Kabaka bwe yagambye.

Yayongedde n’alagira nti byonna ebiteeseddwa mu Ttabamiruka ono bisindikibwe mu bitongole bya Gavumenti ebikwatibwako n’ebitongole by’obwannakyewa saako okukubiriza abakyala okwekebeza endwadde kubanga bwe banaabeera abalamu lwe banaaweereza eggwanga lyabwe.

Abakyala abaabadde mu Ttabamiruka nga bayaayaana okukwata mu ngalo za Kabaka eyabadde abasiibula.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza nti omulembe guno Omutebi gwa nkyukakyuka nga bingi ebikyuse okuli n’abakyala okuweereza mu bwami bwa Kabaka bwatyo n’abasaba obutaddiriza mu buweereza bwabwe.

Nnaabagereka Sylivia Nagginda ye yagguddewo Ttabamiruka ono bwatyo n’asaba Mmengo erowooze ku ky’okwongera ku bakyala ku kabineti y’Obwakabaka ng’omu ku kaweefube w’okubawa enkizo okuteeka ettoffaali ku nkulaakulana ya Buganda. Nga tannaba kuggalawo Ttabamiruka, Kabaka yasoose kuggulawo mu butongole ofi isi erwanyisa obulwadde bwa nnalubiri (Sickle Cell) ku BMK House.

Wano yayaniriziddwa Dr. Bulaimu Muwanga Kibirige owa BMK Group of Companies era akulira kaweefube w’okulwanyisa obulwadde buno wansi wa Uganda Sickle Cell Rescue Foundation eyamutegeezezza enteekateeka ze baliko ne we batuuse mu kumanyisa obulwadde buno mu Bannayuganda n’okubajjanjaba.

Dr. Bulaimu yeebazizza Kabaka okukkiriza okutegeka emisinde gy’amazaalibwa ge ag’omwaka guno wansi w’okulwanyisa obulwadde buno n’agamba nti okuva lwe baatandika kaweefube ono kati myaka etaano egiyise basobodde okutuuka ku bantu 50,968 mu ggwanga. Abantu 10,400 basobodde okwekebeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...