TOP

Gitawo aleeta Schwarzenegger

Added 9th May 2018

Cameroon Gitawo ne Roy Mubiru kafulu mu muzannyo 'Power Lifting' bali mu nteekateeka za kuleeta Mumerika Arnold Schwarzenegger mu kawefube gwe baliko okutumbula omuzannyo guno.

 Cameroon Gitawo nga atudde ku mmotoka ye

Cameroon Gitawo nga atudde ku mmotoka ye

OLUVANNYUMA lw’empaka za ‘RM Power Lifting Championship & Cross Fit’ abavubuka mwe balagidde ebitone mu kusitula obusito okuggwa,

Cameroon Gitawo (Chris Mbibo) ateekamu ssente ne Roy Mubiru omutegesi w’empaka zino bali mu nteekateeka za kuleeta Mumerika omuzannyi w’omuzannyo guno Arnold Schwarzenegger   mu kawefube gwe baliko okwongera okutumbula omuzannyo guno mu ggwanga ne mu mawanga g’Omubuvanjuba bwa Afrika.

Mubiru kafulu mu muzannyo guno abeera mu Amerika gy’awangulidde engule eziweerako yasiimye omutindo abavubuka abeetabye mu mpaka ezabadde ku Kabira Country Club e Bukoto gwe bayolesezza nagattako nti kano kabonero akalaga nti emikisa gya Bannayuganda okuwangula emiddala nga bavuganya mu mpaka eziri ku ddaala ly’ensi yonna bwegiri emitangaavu.

Ye Gitawo omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa eyataddemu ssente yategeezezza nti bali mu nteekateeka za kusisinkana bamaneja ba Schwarzenegger  okulaba nga bogera naye bamuleeta mu Uganda okwogera amaanyi mu muzannyo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo