TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugga Kyoga gubooze ne gusannyalaza ebyentambula

Omugga Kyoga gubooze ne gusannyalaza ebyentambula

Added 9th May 2018

ABATUUZE b’e Kiwangala mu disitulikiti y’e Lwengo balaajanidde Gavumenti okubakolera oluguudo oluva e Kyabakuza okutuuka mu kitundu kyabwe oluvannyuma lw’omugga Kyoga okubooga ekiviiriddeko entambula okukaluba.

 Emmotoka ng’eyita mu mazzi aganjadde mu luguudo.

Emmotoka ng’eyita mu mazzi aganjadde mu luguudo.

Omugga guno guyita mu bitundu eby’enjawulo omuli Kigabo, Kinoni, Mateete ne Sembabule.

Abagoba b’emmotoka ne pikipiki abakolera mu kitundu kino batandise okulinnyisa ebisale olw’oluguudo okuba olubi.

Abatambuza ebiggere nabo tebakyasobola kusomoka mugga olw’oluguudo okujjula amazzi.

Omuvuzi wa takisi, Lawrence Bwanika yagambye nti, “ Embeera ye yatuwaliriza okulinnyisa ebisale kubanga okusomoka omugga guno kifuuse kizibu.

Okuva e Lwengo okugenda e Kampala abasaabaze basasula wakati wa 15,000/- ne 17,000/-”.

Yategeezezza nti, oluguudo lulimu ebinnya bingi ate luseerera ng’amazzi gayingira mu mmotoka ne gonoona yingini.

Zubair Kakeeto yagambye nti, kati bakozesa amafuta mangi kubanga balina okusalinkiriza okutuuka mu Kampala nga beewala akaseerezi.

N’agamba nti embeera tekosezza baddereeva b’ebidduka bokka n’abavuzi ba bodaboda kubanga tebasobola kusomoka mazzi olw’okuba amangi.

N’agamba nti, abantu abatambuza ebirime nabo bakaluubiriddwa olw’emmotoka okuseerera nga n’abamu tebasobola kupangisa mmotoka olw’okubeera ku buseere.

Abatuuze baagala Gavumenti ebakolere oluguudo lwabwe kubanga embeera gye balimu egenda kubaleetera obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...