TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Taata Sam' atuuyanidde ku Poliisi lwa kukuba pulomoota

'Taata Sam' atuuyanidde ku Poliisi lwa kukuba pulomoota

Added 10th May 2018

Omuzannyi wa komedi, Robert Sande amanyiddwa nga ‘Taata Sam’ akwatiddwa n’aggalirwa nga kigambibwa nti yakubye mukama we.

 Maama Sam ne Taata Sam

Maama Sam ne Taata Sam

Yasangiddwa ku poliisi y’e Njeru ng’agguddwaako omusango gw’okukuba Alex Kirumira omutegesi w’ebivvulu era maneja wa LM Events.

Kirumira yategeezezza nga bwe yapatana Taata Sam okumutambuza mu bivvulu eby’enjawulo nga buli kivvulu alina okumuwa emitwalo 50 wabula ebivvulu ebimu talabiseeko ku siteegi ng’awamu agamba nti abantu batono.

Kigambibwa nti Kirumira bwe yagambye ku Taata Sam kwe kuyomba n’amukuba empi.

Yamugguddeko omusango ku fayiro nnamba SDREF 04/08/05/2018.

Taata Sam yeegaanyi n’agamba nti Kirumira abadde amulanga ku bivvulu nga tebakkaanyizza, obutamusasula n’okumutiisa okumukolako obulabe ng’omusango guli ku fayiro nnamba SDREF 49/08/05/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...