TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga bamuzzizza mu kkooti ku kusaddaaka'Omusumba

Omugagga bamuzzizza mu kkooti ku kusaddaaka'Omusumba

Added 12th May 2018

Omugagga bamuzzizza mu kkooti ku kusaddaaka'Omusumba

 Ssonko (ku kkono), Ssemanda, Muganga, Nyenje ne Tebitendwa mu kkooti.

Ssonko (ku kkono), Ssemanda, Muganga, Nyenje ne Tebitendwa mu kkooti.

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu e Mubende, Joseph Mulangira, ayongezzaayo omusango oguvunaanibwa omugagga Richard Ssonko ne banne bana ogw’okusaddaka omwana ne bamusuula mu kaabuyonjo.

Omulamuzi Mulangira okwongezaayo omusango kiddiridde balooya b'abawawaabirwa obutalabikako mu kkooti ate ne batawa nsonga lwaki tebazze mu kkooti. “Balooya nabategeeza mu budde era ne bankakasa nti bagenda kujja nga May 8, 2018 naye kinneewuunyisa okulaba nga tewali n’omu alabise", Mulangira bwe yategeezezza.

Abavunaanibwa kuliko; omugagga Richard Ssonko, Veronica Tebitendwa, Paul Muganga, Frank Ssemanda, Hassan Nyenje ate nga ye Musa Ssekiranda yakkiriza omusango era kkooti n’emusalira emyaka 35 mu kkomera e Luzira.

Kigambibwa nti nga June 2, 2015 omugagga Ssonko ne banne baasaddaaka omwana Clive Kisitu owa Samuel Kasolo ne Racheal Kaseegu nga baamuggya mu maka ga bakadde be e Katakala mu ggombolola y'e Busimbi mu disitulikiti y'e Mityana. Ku Lwokubiri kkooti yabadde ya kutandika ku ssaawa 3:00 ku makya wabula n'erwawo nga bwe balinda ku balooya b’oludda oluwawaabirwa ne batalabikako.

Omuwaabi wa Gavumenti, Joseph Kyomuhendo, yategeezezza omulamuzi nti obutajja bwa balooya kireetedde omusango okukeerewa ate nga bangi abajja mu kkooti bakozesa ssente nnyingi.

Omulamuzi yayogeddeko n’abavunaanibwa omugagga Ssonko n’asaba omusango gutwalibwe mu Kkooti Enkulu e Kampala n’omulamuzi agulimu akyusibwe. Ye Veronica Tebitendwa yategezezza nti alina ennaku okuba nti omusango gugenda kuweza emyezi 4 nga tawa nga bujulizi olwa balooya be okwebulankanya era nasaba kkooti emuyambe ku nsonga eno.

Omulamuzi Mulangira yasabye omugagga Ssonko ng’ayita mu balooya be okuwandiika ebbaluwa eraga obutali bumativu bwe olwo kkooti ebitunulemu esalewo. Oluvannyuma omulamuzi Mulangira omusango yagwongeddeyo okutuusa nga June 6 ne 7 ku ssaawa 4:00 ez’oku makya.

Ye Shelin Kasozi okuva mu kitongole kya Kyampisi Child Care Ministries ekirwanyisa ekisaddaaka baana, yategeezezza nti omusango guno bagenda kufaayo okulaba nga guggwa mu bwenkyanya ate mu bwangu. “Kituluma okuba nti ebisigalira by’omwana kati emyaka esatu tebinnaziikibwa era tugenda kulwana okulaba ng'omusango gutambula mu bwangu olwo omugenzi asobole okuziikibwa.” Kasozi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...