TOP
  • Home
  • Amawulire
  • kusaddaaka'Omusumba yannimba baganda bange bandoga'

kusaddaaka'Omusumba yannimba baganda bange bandoga'

Added 12th May 2018

kusaddaaka'Omusumba yannimba baganda bange bandoga'

 Nnaalongo n'abamu ku bazzukulu be mu kaduukulu.

Nnaalongo n'abamu ku bazzukulu be mu kaduukulu.

NNAALONGO alumirizza omusumba w’abalokole okumubbako obukadde obusoba mu 50 awanjagidde abatwala kkooti y’e Nabweru okumuyamba okutunula mu musango gwe kuba guludde nga tegusalibwa.

Nnaalongo Margret Naggita 54, ow’e Wamala mu Munisipaali y’e Nansana y'awanjagidde abakulira kkooti e Nabweru okumuyamba ku musango gw’omusumba Micheal Kalema ow’ekkanisa y’abalokole esangibwa e Katooke gw'agamba nti, yamulimba n'amubbako obukadde 50 bwe yatunda mu ttaka lye. Kino kyaddirira okumutiisatiisa nti, ziriko ebisiraani ng'omusumba yalina okusooka okuzirongoosa kyokka n'azeezibika.

Ono agamba nti mu July 2010 yafuna akabenje n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yasanga omuntu eyamugamba nti, waliwo omusumba ayinza okumusabira n'awona era ne bamutwala mu kkanisa ya Kalema okumusabira. Agamba nti oluvannyuma omusumba, yamutegeeza nti waliwo baganda be abaali bamuloze era nga kino kye kyamuviirako okufuna akabenje kano.

Yategeezezza nti, omusumba ono bwe yagenda okulabako ewuwe e Nabweru yamutegeeza nti, 'mukama' yamuloosezza nti, alina okutunda ekitundu ku ttaka lino amuzimbiremu essundiro ly'amafuta era nga kino yakikola n'amuwa obukadde 28 .

Agamba nti omusumba yayongera okumupeeka okutuunda ettaka eryali lisigaddewo ng'amusuubizza nga bw'agenda okumuzimbiramu ennyumba kuba yamutegeeza nti, Katonda bw'amuloosezza nga bw'agenda okufiira mu nnyumba eyo singa tagitunda era omusumba yali ayagala amuweemu ssente 6,000,000/- zokka atwale ekibanja n’enju Nnaalongo n'abigaana ne yeenoonyeza abaguzi ababe ne bamuwa obukadde 18 ssaako n'akatundu akaali kasigaddewo n'akatunda ssente 7,000,000/-.

Nnaalongo alumiriza nti mu kiseera we bamusasulira ssente zino, Omusumba Kalema yaliwo era olwazimukwasa kwe kutandika okunyeenya omutwe oluvannyuma n'amutegeeza nti, alina okumuwa ssente zino azirongoose kuba zijjuddemu sitaani n'alagira omuyambi we okuzimutwalira mu mmotooka.

Agamba nti paasita ono yamupangisirizza ennyumba e Katooke nti agira abeera awo n'abazzukulu be nga bw'amunoonyeza ennyumba okutuusa landiroodi bwe yabagoba mu nnyumba.

Alumirizza nti omusumba ono yamuguumaaza nti, alina okugamba nti, ekitundu kye ttaka lye yatunda yakiguza Omusumba ono era nga kino kyatabula abantu be yaali yaguza ekibanja kino ne bamutwalo mu kkooti. Agamba nti mu kkooti yategeeza nti, yakabikwa omusumba ono okulimba kkooti n'emuyimbula. Nnaalongo agamba nti okuva Kalema bwe yakwatibwa, yali asuubira nti alifuna obwenkanya kyokka n'okutuusa kati tegusalwa.

Yawanjagidde omulamuzi omukulu ku kkooti y’e Nabweru Esther Rebecca Nasambu okuvaayo okumuyamba okulaba nga omusango (guli wa mulamuzi mulala) gulowoozebwako. Ku ssaawa eno Omusumba Kalema ali Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...